Bya EDWARD SSERINNYA, BENJAMIN SSEBAGGALA NE HENRY MUTEBI
ABALABIRIZI ab’enjawulo boogedde ku kulondebwa kwa Ssaabalabirizi omuggya Stanley Ntagali eyalangiriddwa eggulo ku Lutikko e Namirembe okudda mu bigere bya Henry Luke Orombi awummula mu December.
Rt. Rev. Nathan Kyamanywa owa Bunyoro-Kitara bwe baabadde ku mbiranyi ne Ntagali okulondebwa yakwogeddeko nti Katonda ye yakukoze. Ate ye Rt. Rev. Stephen Kazimba ow’e Mityana naye abadde mu lwokaano yagambye nti, okusaba kwabadde kw’amaanyi era tebafunye buzibu bwonna wadde okuyomba mu kulonda.
“Kkanisa teyimirirawo ku Bwassaabalabirizi bwokka wabula n’obulabirizi n’abantu abalala abali mu kkanisa. Kino kitegeeza nti tulina okuwa Ntagali obuyambi bwonna obusoboka okyusa n’okutwala kkanisa mu maaso.
Kyokka Ssaabalabirizi eyawummula Mpalanyi Nkoyoyo yagambye nti, Ntagali alina obumanyirivu obumala kuba yali muwandiisi wa pulovinsi nga tanagenda Masindi. Mulinamu obwesige okukola ku bintu ebigenda okuyamba okutumbula kkanisa era musuubira okutwala mu maaso pulojekiti za kkanisa naddala Church House ne All Saints Cathedral.
Ye Rt. Rev. Henry Makumbi owa Western Buganda, yamwogeddeko ng’omusajja alina obumanyirivu obusobola okutwala ekkanisa mu maaso. Wabula ye Rt. Rev. Evans Mukasa Kisekka wa Luweero yasabye Abakrisitaayo n’abalabirizi bonna okuyamba ku Ntagali asobole bulungi okutuukiriza emirimu gya kkanisa.
Rt. Rev. Jackson Matovu owa Central Buganda ye yagambye nti Ntagali ayolekedde okusoomozebwa kuba engatto z’omusajja gw’asikidde nnene.
“Essaala ezisaba okutuwa omulabirizi omulungi ziwedde, kati tudde ku ssaala ezeebaza zokka. Okulondebwa kwa Ntagali kumpadde essanyu era kati ngenda kwebaka ku tulo, Ntagali mwana wange n’obulabirizi mw’avudde obwa Masindi-Kitara nze na butandikawo, kale ndi musanyufu nnyo kuba omuntu alondeddwa obusobozi bulina’ Orombi bwe yagambye nga bamaze okulangirira Ntagali.
Yayongeddeko nti, nkyali Ssaabalabirizi era Ntagali kati tumuyita ‘Ssaabalabirizi omulonde’ okutuusa lw’anakakasibwa mu butongole nga December 16, ng’omukolo gwa kubeera ku Lutikko e Namirembe.
Mu kwogera kwa Ntagali yagambye: Nga omugole, sijja kuba na bigambo bingi, wabula nneebaza Abalabirizi bonna okunteekamu obwesige ne munnonda okukulembera, ekituufu kiri nti omutima gwa ttiimu ngulina era nkakasa nga ngenda kugikulembera bulungi.
Ntagali y’ani
1. Abadde Omulabirizi wa Masindi-Kitara eyasooka. Alina omukyala, Beatrice Ntagali n’abaana bataano nga ku bano kuliko omuwala omu n’abazzukulu.
2. Nga tannafuuka mulabirizi wa Masindi-Kitara mu 2004, ye yali omuwandiisi wa pulovinsi y’Ekkanisa ya Uganda. Aweerezza emirimu egy’enjawulo mu kkanisa, yakolerako e Karamoja okumala emyaka mwenda okuva 1977 okutuuka 1986.
3. Ebyediini yabisomera mu Bishop Tucker Theological College, kati yunivasite y’Abakrisitaayo. Yasomerako e Kenya ne Bungereza. Y’omu ku bali ku lukiiko olufuzi olwa Kabaleega College e Masindi.