Bya H. KALANZI NE J. SSEGUYA
OluvanNyuma lw’okukizuula nti Omuzungu Mate Szamboki amunyooma, omukubi w’ensambaggere Moses Golola asazeewo ayongere ebisoko mu kutendekebwa kwe kimusobozese okugulola ettumba.
Golola, eyakubye enkambi ye e Bombo, agamba nti ennaku essatu z’agenda okumalyo, ayagadde awummuze ku birowoozo nga bw’ayiiya obukodyo bw’anaakozesa ng’amegga Omuzungu. Balwana nga June 29 ku Kyaddondo Rugby Grounds.
“Buli kimu nkikoze, engeri gyendi Mulokole, mmanyi Mukama agenda kuba nange nga nnwaana,” Golola eyasangidde e Ntinda nga tannasitula bw’agamba. Yagasseeko nti ayagala akube Szamboki enzaalwa y’e Hungary amumeze olutiko addeyo anyumize famire ye nti Golola tasaaga.