AMAGEZI luwombo! Ssentebe wa LC I mu Muwonge Zooni e Katwe I, Hajati Aisha Kyakuwa, akasana bwe kaamwokezza n’akawuliramu, n’asalawo okukwata akatebe akakikke ku mutwe asobole okufuna ekisiikirize.
Hajati Kyakuwa yabadde ku mukolo gw’okugabira Bannamakindye enkoko ez’okulunda ku kitebe kya munisipaali e Makindye Olwokubiri.