OLUVANNYUMA lw’okufulumya ekifaananyi kino (ku kkono) ku Lwokusatu oluwedde, twafunye essimu okuva ew’omusajja n’atweyanjulira nti ye Swaibu omusuubuzi w’omu Kikuubo.
Yatugambye nti mwana muwala ono Jojo Gaston mukazi we era amulinamu n’abaana basatu. Mu ggulire lye limu, twabadde twebuuza oba Jojo alina enkolagana ey’enjawulo ne Nince Henry era Swaibu kwe kuvaayo n’ategeeza nti eno nnamba ye.
Twakubidde ne Jojo essimu n’atugamba nti Swaibu kituufu amulinamu abaana abo kyokka yadde baagalana, tebabeera bombi. Jojo, omuyimbi era omuzannyi wa fi rimu, agamba akyabeera mu bazadde be e Buziga.