Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Amawulire
Abayizi 5 bafiiridde mu muliro e Masaka
Nnyendo, Masaka | Jun 27, 2012
Ekisulo ekyakutte omuliro. Ekif: Ali Mambule
  • Share
  • mail
  • img

Bya Musasi wa Bukedde

ABAANA 5 bafiiridde mu muliro ogukutte ekisulo kya Leos Junior Academy mu Nyendo Masaka ku nkya ya leero.

Abafiiridde mu muliro bonna bayizi m,u ssomero lino kyokka emirambo kyenkana gifuuse bisirinza nga kizibu okwawula ani ye ani era gitwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro ly'e Masaka.

Akulira poliisi mu bukiika ddyo Simon Peter Wafana ategeezeeza Bukedde nti abayizi abafiiridde mu muliro babadde tebannategeerekeka mannya kyokka poliisi ekyagenda mu maaso n'okukola okunoonyereza kiki ekyavuddeko omuliro guno.

Guno mulundi gwa kubiri ng'essomero lye limu likwata omuliro mu bbanga lya emyaka ebiri.

Abamu ku batuuze abadduukiridde bategeezezza poliisi nti abakozi ku ssomero baagezezzaako okuzikiriza omuliro kyokka ne gumalemerera.

blog comments powered by Disqus
Katikkiro Mayiga yanditandikidde ku ki mu kisanja kye nga Katikkiro?
1. Okubanja Ebyaffe
2. Okuzzaawo amasiro n’okutumbula ebifo eby’obuwangwa
3. Kuteekawo pulojekiti z’ebyenkulakulana mu bavubuka ba Buganda
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: