Bya Donald Kiirya
BADDEREEVA ba loole ne kabangali ku Clive Road e Jinja kata bakubagane n’abakulembeze baabwe bwe baabadde bagezaako okubasengula mu kifo kino babazze mu kibangirizi baafunye ku Clarke Road okuliraana ddipi y’amafuta.
Ekibiina kya The Lorries and Pick ups Owners Transport Association, ekiddukanya ttenda y’okusolooza ssente mu baddereeva kye kyabadde emabega w’okugaana baddereeva okugenda mu kibangirizi ekiggya era ne kikulira okwekalakaasa kwa baddereeva.
Okwekalakaasa baakututte ne ku kibangirizi gye baabadde babasengulira, ne bagezaako okukiggyako olukomera okutuusa kalaani w’olukiiko lwa Jinja, Abubaker Kirunda bwe yabawooyezzawooyezza.
Omu ku baddereeva, Emmanuel Muyingo, yagambye nti ekibangirizi gye baagala okubasengulira kiri wala nnyo nti kijja kubabeerera kizibu okufuna bakasitoma. Ppaaka ya loole ne kabangali eri kumpi n’akatale ka Napier awasinga okubeera bakasitoma.
“Paakingi empya eriraanye emiti gy’amasannyalaze, essaawa yonna tugikoona ne wafaawo omuntu,” Muyingo bwe yagambye.
Badderee banenya ssentebe waabwe, Awali Ntambi n’omuwandiisi w’ekibiina, Hussein Woira be bagamba nti tebatuusa bizibu byabwe mu lukiiko lwa kibuga sso nga be babakiikirirayo.
Baagambye nti olukiiko lw’ekibuga lubaggyako ssente nnyingi nnyo.
“Ssente za sitiika eza kabangali zaalinnyisibwa okuva ku 6000/- okutuuka ku 15,000/-; ate eza loole zaava ku 15,000/- ne zidda ku 20,000/-,”ddereeva Umar Ssekajja bwe yagambye.
Okusengulwa kuno kuddiridde ebbaluwa eyawandiikibwa Town Clerk wa Jinja, Francis Barabanawe nga May 24, 2012 ng’esaba abakulira baddereeva bano babasengule.
Awabadde loole ne kabangali, ekibuga kitegeka kuzimbawo buduuka. Nga June 15, 2012, Hussein Woira, omuwandiisi w’ekibiina ekigatta baddereeva bano yawandiikira Town Clerk ng’amusaba abapoliisi 14 n’abaserikale abalala okuyambako mu kusengula baddereeva!
Oluvannyuma bakkirizza ku ntandikwa ya wiiki eno okusengulwa okudda mu kifo ekiggya.