Bya Angel Lubowa
BAMASEEKA ab’amannya mu Kampala bali mu kutya olw’okuttibwa kwa Hajji Kiweewa Kigejjogejjo ne Sheikh Abdul Karim Ssentamu abakubiddwa amasasi kumpi mu ngeri y’emu nga balowooza nti kyandiba ekitimba ekikoleddwa abazigu abatannamanyika okubasaanyawo.
Bangi ku bamaseeka ne bayimaamu abamanya okuli Nooh Muzaata, Sheikh Hassan Kirya n’abalala kati batambulira mu mmotoka eziddugaziddwa oba okubeerako n’abantu ababagobereza amaaso olw’obutamanya kiyinza kuddirira.
Hajji Kiweewa yakubiddwa amasasi ku wiikendi e Kyanja.Abaamusse baasoose kumutuukirira ne babanga abanyumyamu n’oluvannyuma ne bamutta era tewali ky’amaanyi kye baatutte.
Enzitta ye yafaanaanyemu n’engeri omuzigu gye yasseemu Sheikh Ssentamu eyattiddwa ku muzikiti gwa William Street mu Kampala naye atalina kye yatwala.
Omuduumizi wa poliisi Lt. Gen Kale kayihura bwe yabadde yakatuuka awattiddwa Kiweewa yataddewo akakiiko ak’enjawulo okulondoola obutemu buno mu ngeri y’emu nga bwe yassaawo akakiiko nga Ssentamu baakamutta.
Bukedde yakitegeddeko nti bangi ku bayimaamu ne bamaseeka beeraliikiridde ebyokwerinda kwabwe. Kyokka omwogezi w’ekiwayi ky’Obusiraamu bw’e Kibuli obukulirwa Supreme Mufti Zubair Kayongo eggulo yategeezezza nti bayimaamu bangi bali mu kutya olw’obutemu buno nga balowooza nti waliwo abatemu abeesomye okubamalawo.
“Tetunnafuna bwesige bumala naddala olw’okuba tewali yakwatiddwa n’akkiriza butemu buno era tetumanyi kigendererwa kya batutta,” Kirya bwe yategeezezza.
Yagasseeko nti obukiiko bwa poliisi tebulina kinene kye bwatuuseeko nti n’olwekyo bali mu kutya kwa maanyi. Ate Sheikh Muzaata yagambye nti ebintu byabasobedde dda ne basalawo kwekwasa Allah kubanga tebalina walala waakulaga.
Kyokka yagambye nti tebagenda kukoowa kulwanirira Busiraamu okutwaliza awamu nti abazigu bwe babeera babalanga mirimu gyabwe bakkiriza okuttibwa.