Bya J. SSEGUYA NE M. NDIJJO
KUNO kwabadde kufungula muntu n’olaga nti ali bwereere. Moses Golola yatuuse n’okulaajana nti, ‘Omuzungu ayagala kunzita leka nve mu miguwa.” Yasoose kuwaga olwo n’abawagizi ne bamusaba abakubire akasajja mu lawundi esooka. Kyokka bwe byatandise akasajja ne kamufuukira ekyambika ne kamukuba n’atya.
Olwalangiridde nti awanguddwa nga lawundi 10 tezinnaggwaako ze baabadde balina okulwana, abantu ne batandikirawo okuyomba, okukasuka obucupa n’okumwewerera okumukuba nga bagamnba nti abaswazizza nnyo. Wabula Golola nga bw’ataggwaayo, era yasigadde akyawaga nga bw’agamba nti, ‘Ye nze Golola Moses of Uganda, the hot temper…oyo omusajja ngenda kumuddamu okumukuba ku Ssande kati mmuteze kakodyo. Ate nkyali nnamba emu wa Uganda.” Naye ebyo abamu obwedda bwe babiwulira nga bongera kwesooza.
Bino byabadde Lugogo Rugby grounds ku Lwokutaano nga Golola attunka n’Omuzungu Mate Zsamboki ow’eggwanga lya Hungary eyamukubye naye n’akkiriza. Wano abantu abamu we bajjuukiridde nti Golola asobola kulya na kunywa nga bw’azze akola ng’anywa kaliita 10 ka juyisi n’ebirala ate abamu ne bamulangira nga bw’ali munnakatemba eyeetaaga okugenda mu National Theatre gy’aba akoleranga emizannyo gye.
Ekivvulu kisaziddwaamu
Omutegesi w’ebivvulu Ssaabavvulu Balaam asazizzaamu olulwana olubadde olw’okudding’ana kw’ebikonde bya Moses Golola ne Mate Zsamboki olubadde lugenda okubeerawo leero ku bbiici ya Resort e Ntebe. Balaam agamba nti okudding’ana kwabwe mu kulwana tekisoboka Golola yakooye nnyo.
“Nneetondera abantu olw’okusazaamu entujjo eno. Naye omulwanyi kennyini ye yasabye nti tasobola musajja. Nti Golola yasoose kubuuza kookiwe nti, “Ebyenda biyiise?” ko ye nti nedda, olwo Golola kwe kusaba kooki agambe mangu ddiifiri okulwana akuyimirize nga tebinnayiika.