Bya ALI MAMBULE
MINISITA Richard Nduhura atongozza ekizimbe ky’eddwaaliro ly’e Masaka ekyazimbiddwa ku bukadde bwa ddoola 8, abakulira eddwaaliro ne bamukaabira ebizibu bye batubiddemu ng’ekisinga ky’abasawo abatamala.
Akulira eddwaaliro lino, Dr. Florence Tugumisirize yategeezezza Nduhura nti wadde ng’ebizimbe ebizimbiddwa bitemya nga muntu, naye abasawo abali mu ddwaaliro lino batono ddala bw’ogeraageranya n’ebizimbe ebiririmu wamu n’abalwadde abalyettanira.
“Eky’ebizimbe kiwedde naye ekizibu ky’abasawo kituli bubi ssebo Minisita,” Tugumisirize bwe yagambye Nduhura n’amusaba akigonjoole bunnambiro.
Yategeezezza nti eddwaaliro lirina abakozi 290 nga bano kuliko n’abasawo naye nga bano batono nnyo ku muwendo gw’abalwadde abasoba mu 1,500 be bafuna buli lunaku.
Yagumizza abalwadde ne Bannamasaka bonna abakozesa eddwaaliro lino nga bwe bagenda okuweereza ewatali kweganya nga ne Gavumenti bw’etuukiriza ebyo bye baagisabye.
Ekitongole kya JICA okuva mu Japan wamu ne gavumenti ya Uganda be baazimbye ekizimbe kino galikweleka omuli ssweta nnya ez’omulembe, ewajjanjabirwa abalwadde abataweebwa bitanda n’ebisenge ebirala omuneekebejjebwanga abalwadde.
Eddwaaliro ly’e Masaka lyakoma okuzimbibwamu ekizimbe ekipya emyaka 75 egiyise era ebimu ku birimu nga mwe muli ne ssweeta enkadde bigenda kumenyebwa.
Minisita Nduhura yagambye nti, “Wadde ng’Abajapaani baakubwa Tsunami gye buvuddeko, tekyabalobedde kutuwa buyambi buzimbye eddwaaliro lino ne linnalyo ery’e Mubende ate nga beetegefu okutuwa n’obuyambi obulala. Bwe tuva mu masekkati ga Uganda tugenda kuzimba amalwaliro g’e Kabale, Hoima ne Fort Portal ate nga tugassaamu n’ebikozesebwa byonna”.