NGA Moses Golola akyanyiga ebiwundu ebyamutuusiddwaako ku Lwokutaano, yeerayiridde okufiirawo okutuusa nga yeesasuzza Mate Zsamboki amuggyeko omusipi.
“We mponera evviivi nga nfuna batendesi bategeerekeka bampe obukodyo obuggunda omuzungu ndeete omusipi wano e Kampala,” bwe yagambye n’agattako okulaga obujega mu bwapulofeesono bwe yagambye nti ekyamukubya kya butasooka kulaba butambi bwa Muzungu okumanya amaanyi ge sso ng’omuzungu yalaba obubwe!