Bya Henry Ssennyondo
ABAVUBUKA Abakatoliki mu Ddinale y’e Nsambya balabuddwa bakomye okujajaamya emibiri gyabwe obuteeweebuula ne basabibwa bagikuume butiriri. Baabasoomoozezza bwe baabasuubizza okubawa ebirabo eri buli muvubuka omuwala anaafumbirwanga nga mbeerera.
Okulabula kuno kwakoleddwa Muky. Betty Kafeero eyabadde omugenyi omukulu ku bivvulu by’abavubuka ba Nsambya Ddinale ebya (MDD) omwabadde okuyimba, okuzannya katemba, okutontoma.
Muky. Kafeero yasuubizza okuwa abavubuka naddala abawala ebirabo anaafumbirwanga n’asangibwa nga mbeerera. Parish ya St. Agnes e Kibuye Makindye ye yasitukidde mu kikopo kya (MDD) wa Ddinale nga yawangulidde ku mugatte gwa bubonero 439 n’ekwasibwa ekikopo.
St. Peter’s e Nsambya baakutte kyakubiri n’omugatte gwa bubonero 385 ne bagabana kimeeme w’embuzi ate Kansanga Parish yakutte kyakusatu. Ebirabo byabakwasiddwa akola ku nsonga z’abavubuka Fr. Denis Walugembe ne Muky. Kafeero ne bajaganya. Wabula enkuba yatataaganyizzaamu ebivvulu bino.