Bya Bbosa Gonzaga
OKWAMBALA engoye kikulu kuba ziyamba okutangira endwadde ze wandifunye naddala ez’ensusu nga kiva ku bujama obukugendako obutereevu, ziyamba okukutangira okukosebwa mu mbeera ezimu singa ofuna obuzibu n’ebirala.
Wabula abasawo bagamba nti waliwo embeera w’otosaanidde kwambala ngoye naddala mu budde bw’ekiro okuyamba olususu okussa n’okwetaaya.
Dr. Brian Aguma, owa St. Collin Medical Center Bukoto alaga obuzibu bw’oyinza okufuna bw’osula mu ngoye.
1. Okulinnyisa puleesa: Kino kiva ku mubiri okufuna ebbugumu erisusse nga kiva kukutaataaganyizibwa kw’omusaayi ekigireeta okulinnya.
2. Okulwala: Singa osula mu ngoye z’osiibyemu kireeta obuwuka obuva ku nfuufu n’ekko ly’okwata buli lw’otuuyana.
3. Endwadde z’ensusu omuli olukuku, oluwumu, olusolo n’endala zikukwata.
4. Okusannyalala:
Dr. Ann Atai, ow’eddwaaliro ly’e Mulago annyonnyola nti singa osula nga week
apise mu ngoye ezikwata omubiri omusaayi gutaataaganyizibwa mu ntambula yaagwo ekivaako ebitundu by’omubiri ebimu obutafuna musaayi n’okusannyalala.
5. Okuwunya olusu: Omuntu bw’anaaba ate n’asula mu ngoye ze yasiibyeemu aba atawaanidde bwereere. Ekko ly’olugoye bwe lyegatta n’entuuyo ng’omuntu yeebase kifuuka kivundu era ogenda okuzuukuka nga tewali ayagala kukusemberera.
6. Okuzing’ama: Singa omwana omumanyiiza okumusuza mu ngoye ezimukwata n’okumuleetera ebbugumu erisusse kisobola okumukosa obulamu olw’obutafuna mpewo emala okukuuma mubiri nga mulamu.
Engeri y’okwewala obuzibu buno
1. Waliwo obugoye obukolebwa nga bwakusulamu. Buba bwa luwewere nga bw’obwambala omubiri gwetaaya n’otofuna buzibu bwonna olw’omusaayi okutambula obulungi.
2. Omuntu asobola okukozesa obuwale obutono oba pijaamu n’ayambala ng’agenda okwebaka kuba bwo buba butono ku mubiri era ebitundu by’omubiri ebisinga biba bweru ne byetaaya.
3. Osobola n’okwebaka obukunya bw’oba tolina gw’oneesittaza.