Bya JOSEPH MUTEBI
ABASAMIZE abafera abantu baakiguddeko. Akulira abasawo b’ekinnansi mu ggwanga, Sylvia Namutebi (Maama Fiina) ne poliisi y’e Nateete bwe baakoze ekikwekweto ne bayoola abamu ku bo okuli n’omusajja abakazi gwe balumiriza okubakozesa nga bagenzeeyo okubasawula.
Ekikwekweto kino kiddiridde poliisi y’e Nateete okutuukirira Maama Fiina ne bamusaba ajje ayambe abantu okubasunsuliramu abasawo abafere.
Abakyala okuva e Nalukolongo, Nateete ne Busega beemulugunya ku basamize ababakwata olw’empaka
nga bagenze mu masabo gaabwe okubasawula ng’ate balina ebizibu tebayinza kwewala masabo.
Omu ku baakwatiddwa Ntanio Gita essabo lye yalizimba ku mwala gw’e Nalukolongo omunene waggulu era ng’okutuukayo omala kuguyitako ku kitindo ky’embaawo kye yateekawo.
Yasangiddwa n’amagumba abiri mu ssabo lye, Maama Fiina ge yagambye nti bagenda kugatwala e Wandegeya bagakebere kubanga gateeberezebwa okuba ag’abantu.
Gita yakkirizza nti abadde
akozesa essabo lye ng’akama-su okufuna by’ayagala era abantu abamu bagamba nti engeri gye yazimbamu essabo lino alabika yagenderera kwagala kusobya ku bakazi.
Abalala abaakwatiddwa baasangiddwa mu kitoogo ky’e Busega nga bafuuwa mmindi era baagezezzaako okudduka kyokka poliisi ne basajja ba Maama Fiina ne bakwatako omukazi Sylvia Nalwanga ne Muhammed Kigozi. Omulala yadduse.
Nalwanga yategeezezza nti yabadde agenze kufuuwa ku mmindi mu ssabo erisangibwa mu kitoogo okutereeza amakage.
Ate Kigozi yategeezezza nti ye yabadde agenze kulaba ku banywanyi be wabula ye ssi musawo.
Maama Fiina yagambye nti ebikwekweto bikyagenda mu maaso era ne gye buvuddeko yagulidde omumyuka we Nsubuga Mayanja mmotoka okukola ku bikwekweto bino.
Abakwate bagguddwaako omusango gw’okweyita kye batali ku fayiro nnamba SD/53/07/07/2012. Wabula Nalwanga, Maama Fiina yamusonyiye abalala ne baggalirwa.