Bya EDWARD SSERINNYA
AGNES Nabukenya ali ku ssimu (0792040624) e Katonga, S.J Ali ku (0782456317) n’abalala ng’omu ali ku 0752486463 ne 0789541060 baasaba okubannyonnyola ku nnima y’entangawuzi ey’omulembe n’ebbanga lye zimala okukula, okumanya oba zibalira mu bisiikirize n’okugumira ekyeya.
Jamir Ssenkumba ne Isma Kalyabwe abatuuze ku kyalo Kibanga mu Mawokota bagamba nti okulima entangawuzi bo baagufuula mulimu kuba mwe baggya ssente ezibayamba okweyimirizaawo.
Ensawo eri wakati wa 140,000/- ne 180,000/-, kyokka gye buvuddeko yali egula emitwalo egisoba mu 30. Entangawuzi zirimu ebika bibiri.
Waliwo enzungu ezaakazibwako ‘Kibooko’ n’enganda. Kibooko ekirungi ekiziriko zanguwa okukula kuba zo za myezi mwenda ku 10 ate Eng’anda zimala emyezi 11.
Okufaananako n’ebinzaali ebiganda, entangawuzi nakyo kirime ky’oyinza okuterekera mu ttaka nga bw’olinda bbeeyi okulinnya. Kyokka kino Ssenkumba agamba nti baakidibya kuba okozesa ssente nnyingi okuzirima, kale kibeera kizibu okukula ate n’otokungula kuba oba oyagala kuggyayo ssente zo zikole ebirala.
Okuzirima n’endabirira yaazo
Simba ng’olekamu amabanga amasaamusaamu g’osobola okuyisaamu enkumbi ey’amannyo giyite fooko ng’okoola. Entangawuzitolina kuzikoola ng’okozesa nkumbi nga tonnafuna bumanyirivu kuba oyinza okuzitema n’ofiirwa.
Bw’oba osima ekinnya, awayiika ettaka w’osima ekirala. wabula sima ebinnya ng’osimbamu ku nkumbi, kuba entangawuzi zikula zidda ku ngulu bw’osima obunnya nga bumpi tezigejja bulungi.
Kasita zimera tandika okukoola, kuba tezaagala kubaamu muddo. Mu yiika ssatu osobola okusimbamu ensawo nga 10, kyokka mu makungula buli nsawo emu osobola okugifunamu endala 10 oba 15 ezo ze za kibooko. Naye singa oba wasimbye N’ganda, ensawo emu osobola okugifunamu ensawo ezisoba mu 20.
Ssenkumba agamba nti, zaagala ettaka nga ggimu era mu nnimiro teekamu ebigimusa bya nnakavundira oba kalimbwe w’enkoko kiyambeko okuzikuza amangu.
Kiba kirungi okusooka okubissaamu nga tonnasimba wabula bw’oba tolina osobola okubissaamu nga wasimba dda entangawuzi.
Zaagala nnyo ekifo nga kyetadde era tezikolagana na bisiikirize, kyokka omusana kasita guziyitirirako ennyo naddala nga tezinnaweza myezi nga mukaaga olwo omanya zifudde.
Okutta obuwuka
Weetaaga okuzifuuyira n’eddagala eritta obuwuka, kozesa eddagala nga ‘Dythane M45’ nga otabuddemu ‘Thiovit’, lino liziyambako ku kawuka akazikaza ebikoola. Singa ebiseera biba byankuba fuuyira buli wiiki.
Kasita guba musana osobola okuyisaawo wiiki bbiri oba ssatu. Entangawuzi zirina akatale naddala mu Owino ne Nakasero
n’obutale obulala mu Kampala.
Waliwo n’abasuubuzi abava e Kenya abazitwala. Abakola ebyokunywa nga bbiya, sooda n’ebirala nabo bazigula okusobola okwongera obuka mu byokunywa byabwe. Wano mu Uganda basinga kuzirima mu Mpigi, Butambala, Bugerere ne Kayunga.