Bya JOSEPHAT SSEGUYA ne MARTIN NDIJJO
ZIIZINO mmotoka Bannakampala ze baliiramu 'kaasi' ebiseera bino ng'abamu tekikyabeetaagisa kusooka kutuuka ku bifo nga 'bbiici' wabula mmotoka ze zikolawo.
Waliwo ze bakozesa nga wooteeri, endala nga loogi. Zo embikkule bazibikkula ne bazeekakaatikako munaana mu kifo ky'abataano n'ebirala.
Mmotoka zino baziwadde amannya agaziwaana omuli 'Nyongeza' nga kiva ku bbeeyi yaazo kuba ya nseko nga ne bwe zibeera mpya ku bukadde munaana ovuga.
Ezimu zinywa nga tadooba kye bava baazikazaako lya Munaku Tadooba, Nigiina n'endala. Emmotoka ezimu Bannakampala bazettanira olw'obwangu bwazo.
Teziseerebwa, tezinywa nnyo mafuta, awafunda zisimbawo, n'abayiga bavuga era ng'abamu mu kuzijereegerera
baziyita Bonna bavuge. Mu zimu ku mmotoka ezisinze okwegulira amannya mulimu Ipsum gye bakazizzaako erya Niigiina.
Egikiyisa lino lwa kukola mulimu guno na guli ng'e Masaka bazisuubuliramu nseenene, etwala emigugu ate y'etwala n'abantu ab'ebbeeyi.
Kyokka abamu bagiyita Kaberege mbu kubanga enkula yaayo ebafaananiramu kamutaka. Toyota Corona ST 170 eyawula eryanda eyakazibwako erya Namwandu kubanga egwa mangu bbeeyi, Corona ST 190 eyakazibwako erya Mugugu olw'endabika yaayo, Toyota Carina eyakazibwako Musege kubanga edduka nnyo, Carina Kiyenje kubanga mu maaso efaanana n'ekiyenje, Corona Reverend kubanga zino okusinga zaavugibwanga Bannaddiini.
Toyota Vitz eyakazibwako erya Tadooba kubanga tenywa. Vitz ezisinga za cc 1000. Progress yakazibwako lya Benz ya mwavu. Eno etunulamu nga Benz wabula egula ssente ntono okukira benz ekitegeeza abaavu baagala okwefaananyiriza abagagga gye bavuga.
Progress empya kati egula wakati wa 10,000,000/- ne 15,000,000/- nga kisinziira ku nnamba. Waliwo mini pick up ng'eno yakazibwako lya Nyongeza olw'okuba ntono nnyo n'essente zaayo ntono, waliwo Toyota Corona eyakazibwako Kiswa ate ng'abalala bagiyita Kibina.
Rav4 abasinga bagiyita 'Wampoomera!'Kuba esinga kuvugibwa bawala bato, nga kirowoozebwa nti baganzi baabwe be bazibagulira olw’okubeebaza okubasanyusa mu buliri. Mu mmotoka endala ezeettanirwa mulimu Spacio, Raum, Duet n'endala.
Zino z'emmotoka ezirwana okudda mu kifo kya Premio, Mark II, Nadia, Vista Ardeo n'endala ezibadde ennyangu okugula naddala eri abatalina nnyo ssente.
Wabula okusinziira ku bibanda by'emmotoka eby'enjawulo, mmotoka ezisoose okwogerwako waggulu wadde nga zaatiikiridde nnyo, zikyali wansi mu bbeeyi n'okuyaayaanirwa ng'ozigeraageranyizza n'ezo ezaasookawo omuli Mark II, Premio n'endala eziri mu kkowe eryo.
Emmotoka ey’ekika kya Progress eyakazibwako bbenzi y’omwavu naye kati bagyettanira nnyo.
Omuvubuka Yusuf kaddu ng’atudde mu mmotoka ye ey’ekika kya Benz eyeebikkula.
Eno Rav4 gye bagamba evugibwa ba(side dish).
Eno Raum.