Bya DICKSON KULUMBA
ABASUUBUZI abakolera wabweru w’akatale k’e Nakawa basabye KCCA okwanguyaako okumaliriza okubazimbira emidaala emabega w’akatale kano, bawone obweraliikirivu bw’okubagoba bwe balimu ensangi zino.
Kino kiddiridde KCCA okuweereza maapu eraga ng’ekitundu kino abasuubuzi mwe bali, bwe kiri eky’oluguudo era ng’essaawa yonna bwe lunaatera okutandika okugaziyizibwa.
Ate gye buvuddeko ekitongole kya Umeme kyayita abasuubuzi bano ne kibategeeza nti abo bonna abakolera wansi wa waya z’amasannyalaze baveewo kubanga essaawa yonna singa ekitongole kyagala okuddaabiriza layini zaakyo.
Baabategeezezza nti n’ ekirala obuzibu bwonna obugwawo nga buva ku masannyalaze, ekitongole tekivunaanyizibwa. Era basabibwa obutazimba nga bagenda waggulu.
Ssentebe wa Kiosk Zooni, Hassan Muwonge yategeezezza nti kituufu omu ku bantu ba KCCA yamuleetera maapu eraga nti ekitundu kyakuliibwa oluguudo lwe baagala okugaziya okuva ku Lugogo By-Pass okudda e Jinja.
Yayongerako nti mu pulaani y’akatale kano akaazimbibwa mu 1997, ekitundu kino kyalekebwawo nga paakingi y’abantu abajja okugula mu katale era abasuubuzi okugira nga bakikoleramu lwakuba ebizimbe by’akatale ebiri emabega, tebinnamalirizibwa!
“Kituufu nti abantu baffe bali mu bweraliikirivu, naye nsaba okubagumya nti we bali baliwo mu mateeka, nga bwe tukolagana ne bakama baffe okulaba ng’emidaala gy’akatale egikyasigaddewo gimalirizibwa,” bwe yategeezezza.
Yasabye n’abakulu mu KCCA obutayisaamu maaso bakulembeze b’abasuubuzi, era nti bwe babaako bye baagala okukola kyandibadde kirungi ne basooka okwogera nabo ne babayamba.
Wabula omwogezi wa KCCA, Peter Kaujju yategeezezza nti banoonya ssente basobole okumaliriza emidaala gino nga bakolagana n’ekibiina ekibagatta.