Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Eby’eddiini
Ffenna tuli basumba
Kampala | Jul 22, 2012
Msgr.Kanyike.
  • Share
  • mail
  • img

 KU Ssande eno twebuulirire ku kiki ddala ekitufuula Abakristu okutwawula ku bibiina ebirala. Mukama waffe bwe yali adda eri Kitaawe mu Ggulu, essaala gye yamusaba yagamba nti, 'Kitange bonna be wampa nkusaba babeere kimu nga ggwe nange bwe tuli ekimu.'

Evangiri kino kye kikulu ffena ky'etusaba okubeera kubanga ffenna tulina omusumba omu era ye Katonda eyajja mu ffe ng’afuuka omuntu nga ffe mu Yezu Kristu. Omulanzi Yeremia gwe tunaawulira mu ssomo erisooka (23,1-6) atugamba nti Mukama agamba nti ajja kukung'aanya abasigaddewo mu ggana lye, abateekeko abasumba. Nti era zibasanze abasumba abasaasaanya endiga z’omu kisibo kye.

Ate Paulo mu Efezi 2, 13-18 n’atugamba nti Kristu yennyini ly'eddembe lyaffe, amawanga agaali abiri yagafuula limu. Ate mu Vangiri ya Marko Mukama atugamba nti kikwasa ennaku okulaba ng’abagoberezi be beeyawulayawulamu ne bafuuka endiga ezitaliiko musumba. (Marko 6, 30-

34). Kya nnaku okulaba nti ffe abalina omusumba omu ate tuliira ku nzijuliro enjawufu nti bano Bakatoliki, bano Bakristaayo, bano balokole n’abalala. Ate oluusi ne tutuuka n’okulwanagana ne kirabikira ddala nti tulinga endiga ezitaliiko musumba so ng’ate tumulina naye tugaanyi okuwulira eddoboozi.

Kitaffe omutukuvu omugenzi Papa John XXIII ng’awulira ennaku kye yava ayita olukiiko (Vatican II) lwebuulirire ku kigambo eky’okweyawula-yawulamu ng’ate ffenna tuli Bakristu. Lwaki tuyimba nti tuli kimu mu Kristu ng’ate mu bikolwa twawukanye. Ennaku eno ye yasindika omutukuvu John XXIII okuyita olukiiko luno lusabe Mwoyo atuyambe tuzzeewo obumu Mukama waffe bwe yagamba mu ssaala gye yasaba Kitaawe. Bakristu baganda bange, ffenna mu Batisimu Omukama atutuma mu bulamu bwaffe obw’enjawulo tubeere basumba.

Ggwe omusomesa endiga zo be bayizi, tozireka kusaasaana, omuzadde abaana z'endiga zo. Kyannaku nnyo naddala mu budde buno abaana abali mu kulindirira okuyingira mu yunivasite n’obasanga mu Kampala nga ddala ndiga ezitaliiko musumba ezirindiridde okukavvulwa emisege. Awo nno tujjukire obuvunanyizibwa bwaffe mubusumba obwatukwasibwa mu bulamu bwaffe tuleme kusaasanya abo be tusumba. Mbagaliza Sande ennungi.

blog comments powered by Disqus
Katikkiro Mayiga yanditandikidde ku ki mu kisanja kye nga Katikkiro?
1. Okubanja Ebyaffe
2. Okuzzaawo amasiro n’okutumbula ebifo eby’obuwangwa
3. Kuteekawo pulojekiti z’ebyenkulakulana mu bavubuka ba Buganda
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: