Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Ssenga
Nsaba Katonda nzaale abalongo
Jul 23, 2012
Nakawooya
  • Share
  • mail
  • img

OMULANGIRA andaze omukwano era nsaba Katonda ampe oluzaalo lwa balongo nange mmuweese ku kitiibwa kya Ssaalongo kuba nabulwa engeri gye nnyinza okumwebazaamu. 

Nze Faridah Nakawooya, mbeera Kibuli. Omulangira wange ono mmulaba nga kirabo kye nnafuna okuva eri Katonda. Mwami mukkakkamu nnyo, era akwata mpola ensonga ze. 

Mmaze naye emyaka mukaaga naye amazima sinnamulabamu mize gye mpulira bakyala bannange nga bakaaba mu maka. Tanjuza era nange mmusuubiza okubeera omukyala omulungi olubeerera nga simuswazizza. 

Ampadde ebirungi bingi nga muno mwe muli n'ab’ekika kye okunjagala ennyo nga mukyala we. Nnoonyezza ekirabo kye nnyinza okumuwa kimbuze era nasazeewo kusaba Katonda ampe abalongo kuba teri kitiibwa kisinga ekyo mu bufumbo.

blog comments powered by Disqus
Katikkiro Mayiga yanditandikidde ku ki mu kisanja kye nga Katikkiro?
1. Okubanja Ebyaffe
2. Okuzzaawo amasiro n’okutumbula ebifo eby’obuwangwa
3. Kuteekawo pulojekiti z’ebyenkulakulana mu bavubuka ba Buganda
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: