Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Ebyobulimi
Omusujja gw’embizzi gusattiza abalunzi
WAKISO | Jul 24, 2012
Embizzi mu kiyumba
  • Share
  • mail
  • img

Bya DICKSON KULUMBA

MUKY. Erivaniya Namiganda, omutuuze w’e Bwebajja mu ggombolola y’e Ssisa e Wakiso, asigadde mu maziga oluvannyuma lw’omusujja okumuttira embizzi ze 10 omulundi gumu!

Ate Jane Nalubowa nga mutuuze w’e Bweya essuubi ly’okusigazaawo embizzi limuweddemu olw’omusujja okumuttira embizzi mukaaga.

Omusujja gw’embizzi ennaku zino gutawaanya abalunzi mu disitulikiti omuli Kampala, Wakiso, Mpigi, Mukono, Kayunga n’endala.

Dr Stephen Lule omusawo w’ebisolo mu Kampala agamba nti omusujja guno gwa bulabe era bwe gukwata teguwona.

Engeri gye gusaasaana
Bw’oba tofuuyira mbizzi butalumwa nkwa, kiyinza okuvaako okulwala singa zirumwa enkwa.

Singa wabaawo embizzi efudde omusujja ne bagisuula ku ttale kyangu empewo okutambuza obulwadde buno ne bukwata
eziriraanyeewo.

Embizzi ezitaayaaya kyangu okukwatibwa obulwadde kuba eyo gy’egenda wayinza okubaayo endwadde.

Okubeera mu bifo gye battira embizzi kyangu okufuna obuwuka n’okubutambuza mu kisibo kyo.

Ebintu mwe basibye ennyama y’embizzi eyalina omusujja nabyo bitambuza obulwadde.

Obubonero kw’olabira omusujja gw’embizzi

  • Terya na kunywa bulungi.
  • Embizzi yeekweka ekitangaala era ogisanga yeekukumye.
  • Ziddukana nga zivaamu ebintu ebiddugavu ebibeeramu olusaayisaayi.
  • Embizzi ebeera eyokerera.
  • Bw’eba enjeru, ekyuka langi ku matu, wansi w’olubuto ne mu bisambi nga mu bitundu bino byonna wamyuka.
  • Bw’oba tozifuuyira, ensekere zennyinni ze zisooka okudduka ekibabu ky’omusujja era omulunzi bw’aba mwegendereza, amangu ddala nga yaakalaba ensekere nga ziva ku mbizzi zigwa wansi, amanya nti obulwa buggusse.
  • Embizzi ebeera eggwaako essowola.
  • Eddoboozi ly’embizzi likyuka, litandika okusaakaala era bw’eba essa, omukka ebaka mubake.
  • Dr. Lule ayongerako nti obubonero buno bwonna tosobola kubulaba mu lunaku lumu era mu mbizzi emu wabula bulabikira mu mbizzi ez’enjawulo!
  • “Bwolaba obubonero buna kw’obwo obumenyeddwa, mu nnaku bbiri embizzi eyo ebeera nfu,” Dr. Lule bw’ayongerako.

Embizzi mu kiyumba

EKY’OKUKOLA:
Mu mateeka g’ebisolo; embizzi bwe zikwatibwa omusujja guno, kirungi n’ozookya zonna ekiyumba ne kimala ebbanga lya myezi nga mukaaga nga tolundiramu ate nga ekyozezzaamu n’eddagala eritta obuwuka.

Tokozesa musawo atambula mu balunzi bangi kuba ayinza okutambuza obulwadde okuva mu kisibo ekirala.

Mu nsi yonna omusujja guno gukyabuliddwaako eddagala eriguwonya.

Ate Dr. Leonard Kawule agamba nti obuyonjo bwetaagisa nnyo mu kadde kano kubanga kikendeeza ku mikisa gy’embizzi
okukwatibwa obulwadde.

Alina ky’abuuza oba ky’awabula ku musujja gw’embizzi weereza ensonga yo ku ssimu nnamba 0712- 367427

blog comments powered by Disqus
MICHO: ‘Nzize kutuusa Cranes mu nsi ensuubize’ . Olowooza Micho anaatuusa Cranes mu nsi ensuub
Ye
Nedda
Simanyi
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: