Njagala kulima bijanjaalo sizoni ejja. Ntandika ddi okutegeka era okusiga kutandika ddi? (0782726267)
Wandibadde watandise dda okutegeka w’ogenda okusimba ebijanjaalo, kuba sizoni eno erabise okuyunga ng’eri eyaggwa. Naye ogira olindako okutuusa mu August nga yaakatandika singa enkuba eba etonnya awo ng’osimba.
Waliwo asobola okunfunira kkiro nga 500 ez’obulimaawa? Nnina akatale. Paul (0781429818)
Sirina gwe mmanyi abulina, wabula omulimi yenna bw’oba olina obulimaawa kuba ssimu (0781429818) babukuguleko.
Enkoko z’amagi singa nziwa emmere y’ezennyama zisobola okukula ng’ezennyama? (0772034225)
Zisobola okukula nga ez’ennyama, kuba emmere gy’oba oziriisa y’eziyamba okuzimba omubiri n’okukola ky’ozaagalamu
okugeza mu nkoko ez’ennyama mu mmere yaazo mulimu ekiriisa ekikola ennyama. Eno emmere k’obe nga ogiwadde z’amagi, zikyuka.
Ng’enda kulima yiika ssatu eza soya Nam 4N, naye akatale weekali? (0755641351).
Akatale ka soya weekali ate batono abamulima, waliwo kkampuni ezikola obuugi bwa soya ezimugula.
Osobola okumutunda mu katale nga Owino, mu Kisenyi n’e Juba bamutwalayo.
Nsobola ntya okufuna ensigo za kasooli ow’embala? (0712613930)
Waliwo kkampuni nnyingi ezitunda kasooli ow’embala okugeza aba Fica, Pearl Seeds, Mt. Elgon, EA Seeds n’amalala.
Nnina obummonde ensawo 50, osobola okunfunira abugula? Kasule Hannington (0773780641)
Sirina katale ka bummonde, naye omusomi yenna akalina osobola okukuba ku nnamba 0773780641 oba 0782006608 n’obumugulako.
Biddiddwaamu John Bosco Jingo ow’ebyobulimi n’obulunzi e Nakawuka.