NZE Juliet Kyokunda, mbeera Kisugu. Ndi mu nnaku ey’ekitalo olw’omwami wange okumbulako nga simanyi kye yabadde. Simanyi oba ali mu masanyu oba ali mu bizibu era bino ebibuuzo mbyebuuza buli kadde naye nga sirina abinziramu.
Kati eweze wiiki nnamba bukya ambulako era ndi mu nju n’abaana abataliiko ayamba. Olunaku lwe nasemba okumulabako yakomawo awaka ne tulya bulungi ekyeggulo.
Bwe kyaggwa kwe kuntegeeza nga bwe yali agenzeeko ku bbaala okunywa ku mwenge. Kino saakifaako kuba bulijjo abadde akikola wabula nakanda kumulinda kudda na buli kati simulabako.
Enkeera nagezaako okubuuza ku bantu b’ebbaala ne bantegeeza nga bwe yamalirizza okunywa n’akomawo awaka. Nagenda ku poliisi e Kisugu ne nzigulawo omusango ku fayiro nnamba SD/18/20/07/12.
Omwami wange abadde mulungi gyendi era tandagangako mbeera mbi yonna mu myaka omukaaga gye tumaze ffembi. Alina empisa ate muntumulamu nnyo era antwala nga mukyala we.
Obuzibu mu kiseera kino nnina bungi kuba mbadde sikola kyokka nnina abaana era simanyi kye ng’enda kubakolera. Wano we nsabira omwami wange bw’aba nga gy’ali mulamu akomewo kuba nze ndi mweraliikirivu nnyo era
simanyi waakutandikira na bya kuddukanya nsonga za maka gaffe.