Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Ono ye kampala
Obwenzi mu Kampala
Jul 25, 2012
  • print
  • mail
  • img

Bya JOSEPHAT SSEGUYA

EKIRI mu Kampala kika! Kumpi buli muntu mwenzi. Va ku bamalaaya bano abeeyanika ku nguudo za Kampala naddala Speke n'endala. Lipoota eyafulumiziddwa gye buvuddeko eraga nti abantu abasinga benzi naye 'diguli' ye yawuka.

Abafumbo be bali ku mwanjo nga 99 ku 100 benda. Ate abakyala abatakola 90 ku 100 nabo balina bwe bakukuta mu by'obwenzi.

Olw’obwenzi okweyongera ate nga wakyaliwo n’akatuubagiro k’ebyenfuna loogi nazo zaayongeza bbeeyi, era abantu baatandika okuzeepena.

Wadde mu buli kanyomero waliwo loogi, abantu tebakyalinda kugenda mu kizimbe wabula ku mbalaza, ku kkubo, mu biyungu, mu butale, kaabuyonjo z'olukale n'ebinaabiro, enyumba z'ebifulukwa, mu ofi isi, ku bbiici, mu bivvulu naddala okuliraana siteegi awo awabeera abalabi abangi mu kanyigo awo abaagalana kye beekola kiba kika nga n'abali mu bisubi kisa kinegula! Zo akeedi z’omu Kampala naddala ku myaliiro gya waggulu nayo waliyo loogi.

Eno abantu naddala abasuubuzi bakeerayo era buli ssaawa ziba bbize. Abendera mu mmotoka be basinze okuwuniikiriza anti basimba ku kkubo awo ne batandika okukyekola. Abalina ku nsonyi bagenda ku zi 'washing bay' eziri okumpi oba mu paakingi za mmotoka gye basasula 1,000/- oba 2,000/- ne batandika kulya bintu nga n'omukuumi akitegeddeko.

Bakyusizza essaawa z'obwenzi Gye buvuddeko, obwenzi bubadde bukolebwa nnyo mu malya g'ebyemisana naddala ku ssaawa musanvu ez'emisana kyokka kati tebakyalina ssaawa. Abasinga obwenzi babutandika ku ssaawa 12:00 ez’olw’eggulo okutuuka ku ssatu ez'ekiro.

Lwaki? Wano we basobolera okulimba ku baami b'awaka oba abakyala awaka nti, 'Swittie ndi mu jaamu' oba nti, 'Mukwano nsonyiwa nnina we mpakinze nninda jaamu akkakkane.

' Mu benzi bonna, okunoonyereza kulaze nga waliwo emirimu egy'enjawulo egisindana mu bwenzi. Okugeza owa cutekisi n'owa bbuca balina enkizo ku mutunzi w'embugo n'essanduuke z'abafu.

blog comments powered by Disqus
NoImage
Nnamungi w'omuntu atambulira ku beesimbyewo ku Bwapulezidenti ategeeza buwanguzi oba kukyamuukiriza
Ye
Nedda
Simanyi
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Noimg Developed by: logo