Bya ANGEL LUBOWA, HANNINGTON NKALUBO NE HASFA NAAVA
NNYINA w’omukungu wa Gavumenti gwe baakutte agaanyi okulya emmere. Alumirizza nti ekyakwasizza mutabani we si kirala wabula mpalana za ku mulimu.
Muky. Teopista Nanfuka Lwokya (69) yategeezezza Bukedde eyamusanze ng’akyali mugonvu oluvannyuma lw’okukubwa puleesa nga poliisi ezinze amaka ge naye okumwaza, nti abanene ba gavumenti mu Minisitule mutabani we mw’abadde akolera babadde beewuuba ewa mutabani we Geoffrey Kazinda nga baagala asse emikono ku mpapula babbe ssente.
“Geoffrey yang’amba nti maama nkubuulire ekigenda okunviirako ebizibu wano bakama bange bampeeka okubafunira ssente mu ngeri yonna kyokka nga nange sizirina.
” Muky. Nanfuka alumiriza nti ye kennyini yeerabirako omu ku bakungu abanene mu ofi isi ya Katikkiro (erinnya tulisirikidde) ng’azze ewa mutabani we e Bukoto.
Amaka ga Muky. Nanfuka galiraanye amayumba ga Kazinda ageefaananyiriza agasangibwa mu UCB Zooni e Bukoto.
Yagambye nti geeti eyingira ewa Kazinda tebatera kugiggula ekiwaliriza abakungu bano okuyita mu geeti ye era mmotoka zaabwe bazisimba mu luggya lwe ne bakozesa akalyango akatono okutuuka ewa Kazinda.
Ku bibadde bigambibwa nti Kazinda yeekweka, nnyina yagambye nti kino ssi kituufu kubanga mutabani we abadde ekiseera kyonna taddukangako era ye yeetwala ku poliisi.
Muky. Nanfuka yeekkokkodde obukambwe poliisi bwe yakozesezza ng’ezze okukwata mutabani we omwabadde n’okumenya enzigi z’ennyumba omuli n’eyiye.
“Bansanze ng’enda kusaba ku Ssande ne bamboggolera era ne bang’aana okuva awaka. Era wano puleesa we zankubidde.
Mutabaniwange omulala Wamala eyabadde agezaako okubannyonnyola naye baamusindise katono agwe,” Muky. Nanfuka bwe yagambye.
SSENTE KAZINDA AZIGGYA WA?
Nanfuka yagambye nti ssente n’amayumba ebitiisizza abantu abamu byonna si bya Kazinda wabula bya famire.
“Baze, omugenzi Aloysious Lwokya yali mukozi wa gavumenti ku ddaala ly’omuwandiisi ow’enkalakkalira era we yafi ira mu 2008 nga y’omu ku bawabuzi ba gavumenti. Yaleka obugagga omuli amayumba n’ettaka Kazinda ne baganda be kwe bazze bazimbira,” Nanfuka bw’agamba.
Yannyonnyodde nti omugenzi yatunda yiika z’ettaka ezisoba mu 90 e Kakiri n’agula poloti eno okuli ebizimbe bino era ye yatandika n’omusingi gw’amayumba gano gapangisibwe abaana bafunemu ssente.
Yagambye nti n’ebyapa byonna biri mu mannya ge (Nanfuka) okumalawo otutabuka mu baana be.
ASIIBYE KU POLIISI
Eggulo Kazinda yasiibye ku poliisi ng’abuuzibwa ku bigambibwa nti yajingirira ebiwandiiko n’okutwala ssente za gavumenti mu bukodyo.
Go amaka ge gakyakuumibwa poliisi wamu n’emmotoka ezikunukkiriza mu 10 poliisi z’egamba nti zize wabula ng’abooluganda be bagamba nti ezimu za baganda be abaabadde bazze okumulaba amawulire bwe gaawandiise nti yeekweka.
Poliisi yabadde yeetegereza okulaba oba mmotoka zino zonna zize kubanga kyategeezeddwa nti waliwo kaadi ya mmotoka eyasangiddwa mu mannya g’eyaliko Katikkiro wa Uganda Polof. Robinison Apollo Nsibambi.
KAZINDA Y’ANI?
Abamanyi Geoffrey Kazinda omubazi w’ebitabo mu ofi isi ya Katikkiro wa Uganda bamwogeddeko ng’omusajja amanyi okulya obulamu ate omuntu w’abantu naddala aboomuliraano.
Bagambye nti Kazinda abadde atera okubeera ne mikwano gye mu wooteeri ez’amaanyi mu Kampala nga Sheraton.
Abamu ku batuuze mu UCB Zooni e Bukoto Parish I gy’alina amaka agatemya ng’omuntu baagambye nti muntu w’abantu era abamu ku baliraanwa be okwabadde ne nti ye muntu aliraanika.
“Munnaffe yatuyamba mu kulongoosa oluguudo n’okulufuuyira ne lutabaamu nfuufu era atera n’okusasula ssente ezigogola
emyala egiriaanye ekitundu mw’ali ne gitazibikira,” Ssettuba bwe yagambye.