Bya JOSEPHAT SSEGUYA NE JOSEPH MUTEBI
OLUTALO wakati w’abayimbi Bebe Cool ne Bobi Wine lusajjuse Bebe bw’agobye abadde maneja we ate n’akubagana n’abekibiina kya Bobi mu bbaala abamu ne basigaza mbale.
Bebe abadde mu Amerika olwakomyewo n’afuumuula maneja we Emma Sserugo ng’amulanga okumulyamu olukwe n’atandika okukolagana n’abekibiina kya Fire Base ekya Bobi Wine ye kye yatuuma Kadingo Family bwe yalabibwako ku pulogulaamu y’Omubanda wa Kabaka eragibwa ku Bukedde Ttivvi.
“Omwezi oguwedde nnabadde mu Amerika ne bambuulira nga Emma bwe yali agenda okulabikira ku Bukedde TV mu pulogulaamu y’Omubanda wa Kabaka ne mmukubira essimu okuzuula ekituufu n’abyegaana.
Kyokka bwe nkomyewo ne bandaga obutambi ng’ali ku pulogulaamu eno,” Bebe Cool bwe yagambye. Ekirala ekyanyiizizza Bebe Cool kwe kudda n’asanga Emma ng’ayagala kuwa ndagaano muwala Remah Namakula, ye Bebe Cool kye yali yamugaana. Bebe Cool kati yafunye maneja omupya nga ye Tickietah.
EMMA YEERWANYEKO
Kyokka Emma yategeezezza nti, “oyo Bebe alina okukimanya nti maneja akolerera muyimbi kuba bulungi sso si mpalana
zaabwe. Agamba nti eky’okukyala ewa Bobi Wine e Magere ssi kipya kubanga bulijjo agenda era ye yamukkirizisa okuyimba ne Bebe Cool mu kivvulu kya ‘Battle of Champions’ ekyali e Lugogo.
Bebe Cool musinga emyaka era siyinza kuddamu kukola na muntuammalira biseera. Nsobodde okukola n’abayimbi abawera okuli Chameleone, Phina Mugerwa, Sophia Nantongo naye oli bw’akoowa okukola nange nga mmuta,” Emma bwe yagambye.
Akanyoolagano akaabadde ku Club Silk ekiro
OBUSUNGU bwa maneja we, Bebe Cool yabututte ne mu Club Silk mu ‘Campus Nite’ gye yalwanidde n’abayimbi ba Bobi Wine aba Fire Base okuli Mickie Wine ne Bull Swagga abaayimba oluyimba lwa ‘Majambebe’ olumujerega.
Olutalo lwazingiddemu n’abayimbi ba Big Muzik Entertainment abakulirwa Big Eye eyakubiddwa eccupa ku mutwe nga kati anyiga biwundu. Olutalo lwatandise ku ssaawa nga mukaaga kitundu ez’ekiro Bebe Cool bwe yazze mu bbaala ne bakanyama be okwabadde Champion Marvin ne Magumba.
Big Eye kati anyiga biwundu.
Bwe yafunye omukisa okuyimba, yatadde ebigambo ebivuma abayimbi ba Bobi Wine era baamulinze kufuluma kasenge omukubirwa emiziki olwo eng’umi ne zitandika.
Olutalo luno olwabaddemu muto wa Bobi Wine ayitibwa Mickie Wine, Bull Swagga ne Big Eye lwafulumye n’ebweru wa Club Silk olwo ne batandika kukubaganira ku luguudo. Mu kavuvung’ano ng’eccupa ziyiting’ana waliwo ow’amawulire owa UBC ttivvi eyakubiddwa eyategeerekeseeko erya William era ono yagenze omutwe gutonnya musaayi n’Omuzungu omu eyanuuse omukono.
Mickie Wine muto wa Bobi Wine agamba nti naye yakubiddwa.
Poliisi ya Jinja Road yayitiddwa ku ssaawa nga musanvu ogw’ekiro n’eragira Bebe Cool agende naye kye yakoze. Bebe Cool yatutegeezezza nti kituufu waabaddewo okulwana kyokka nti ‘bakadingo’ ba Bobi Wine be baakutandise era ye ekyamuwonyezza kwe kwewoma eccupa eyabadde emukanyugiriddwa Mickie Wine. Chameleone naye yabaddewo n’abataasa. Bobi Wine ye teyalabiseeko.
Bebe Cool nga yennyonnyolako.
Emma Sserugo (ku kkono) abadde maneja wa Bebe. Ku ddyo ye maneja wa Bebe omupya, Tickietah.