Bya Ali Wasswa ne Kizito Musoke
YABADDE yaakatuuka awaka mukyalawe amwaniriza mu kiro ky’Olwokusatu, ate n’afuna essimu ey’amangu bwatyo n’akwata emmotoka ye n’agenda. Baagenze okuddayo okumulaba nga bamuttidde ku siteeringi mu mmotoka ye .
Okuttibwa kw’omusuubuzi ono Dennis Mulangira omusuubuzi omututumufu e Mbarara kwegasse ku ttemu erizze likolebwa ku basuubuzi mu ggwanga naddala mu Kampala kyokka eky’enjawulo nti enzita ekyuseemu.
Nnamwandu w’omugenzi, Sarah Mulangira yategeezezza nti mu kiro ky’Olwokusatu, bba yabadde yaakadde okuva ku mirimu gye ne wabaawo abamukubira essimu nga bamugamba ku bya bizinensi.
Yakutte mmotoka ye n’addamu okufuluma kyokka n’azuulwa enkeera ng’attiddwa ku siteeringi.
Minisita omubeezi akola ku byobulunzi Lt Col Bright Rwamirama asinzidde mu kuziika Mulangira n’alabula abantu ku masimu agabakubirwa amatumbibudde.
Yagambye nti waliwo abantu abageeyambisa okumanya omuntu w’ali bamutuuseeko obulabe olwo ne bamulimba ddiiru ez’empewo. Yagambye nti waliwo abafudde obutemu omulimi nti kyokka gavumenti egenda kugubatamya.
Poliisi eraze by’olina okugoberera ku ssimu ezikubirwa
Mu kiseera ky’ekimu poliisi ewadde abantu amagezi ge balina okugoberera ku masimu agabakubirwa ekiro.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Ibin Senkumbi agamba:
- Abantu balina okwekengera abantu ababawa ddiiru ez’ekiro ezirabika nga ezifuna ennyo ate amangu.
- Omuntu bw’akukubira essimu n’akutegeeza nti akumanyi, sooka omubuuze y’ani era yakumanyira wa? Ne bw’oba omumanyi naye nga tolabawo nsonga ya nnyo ekwetaaza kiro, mwenenye olinde enkya era oggyeko essimu yo.
- Bw’eba nnamba y’essimu gy’otomanyi ng’akukubira buli kiro gitwale ku poliisi, ejja kulondoola omuntu oyo, akukubira buli kiro.
- Bw’osalawo okumusisinkana oyo gw’oteekakasa, mugambe musisinkane enkeera emisana kuba tewali kintu kitasobola kulinda kuba n’omukisa teguzibirwa kkubo.
- Singa omuntu gw’oteekakasa bulungi akugamba okumusisinkana mu kifo ekimu, osobola okumugamba ne musisinkana mu kifo ekirala. Ekifo ky’omuwa kakasa nga mulimu abantu abawerako.
- Bw’oba ogenda baako abantu b’otegeezaako era togenda wekka.
- Buulira abaawaka wa gye bakuyise oba ennamba z’essimu y’omuntu akukubiddwa.
11 BE BAAKAKWATIBWA
Abantu 11 be baakakwatibwa ku ttemu lino mu kunonyereza poliisi kw’eriko ng’okubuuliriza bwe kugenda mu maaso nga ku bano kuliko Haji Edirisa katende akulira ekibiina ky’abavuzi ba takisi e Mbarara ekya Mtoda, ng’ono babadde n’enkaayana ne Mulangira ku tenda ya paaka, Gonzaga, bbulooka wa MTODA, n’abalala, aduumira poliisi mu Ankole, Martin Abiru be yagaanyi okwatuukiriza nti kyanditaataaganya okunoonyereza.
Omugenzi yaziikiddwa e Katete Nyamitanga mu Mbarara.
Abasuubuzi abazze battibwa kwe kuli Hajji Kigejjogejjo, Peter Baddokwaya n’abalala. Omuduumizi wa poliisi Kale Kayihura yategeezezza wiiki eno nga bwe waliwo abasibe abaateebwa oluvannyuma lw’okukola ebibonerezo byabwe nga kati be bapangisibwa okutta nti kyokka poliisi ebali mu buufu.