Bya Eddie Ssejjoba
OMUNTU omu afiirdde mu ddwaaliro e Ntebe oluvannyuma lwa mmotoka okukoona abavuzi ba bodaboda bana abaabdde baweese bannaabwe ku luguudo oluva mu Kitooro okugenda ku kisaawe e Ntebe bwe baabadde bawerekera Kabaka.
Eyafudde ye Robert Kyegombe (20) omutuuze w’e Rugonjo mu Div B e Ntebe eyatomeddwa wamu ne banne bwe baabadde nga bawondera mmotoka za Kabaka.
Kabaka yabadde ava Nakiwogo ng’ayolekedde Kigungu kyokka wakati wa Kitooro ne Aero bbiici mmotoka eyabadde ewenyuka n’ebakoona.
Omwogezi wa poliisi, Simon Kutesa yakakasizza okufa kwa Kyegombe eyafudde nga yaakatuusibwa mu ddwaaliro e Ntebe. Yagambye nti poliisi ekyanoonya mmotoka eyabakoonye kyokka abaabaddewo bagamba nti yabadde ya buyonjo nga nnyiniyo yabadde agivuga akuba eng’ombe n’okuleekaana olw’essanyu ly’okulambula kwa Kabaka.
Eyafudde yabadde avuga pikipiki nnamba UDV 274 Bajaj Boxer era ekikoofiira kye yabadde ayambadde kyavuddeko ne kiyiringita mu luguudo wakati.