Bya LWANGA KAMERE
Egyazannyiddwa mu bika ku Lwokutaano:
Enkerebwe 1-0 Ekiwere
Enjovu 7-0 Enkejje
Ssande e Wankulukuku:
Enjobe - Namungoona, 8:30
Engo’nge - Lugave, 10;30
LEERO (Ssande) bazzukulu ba Ndugwa abeddira Olugave lwe batandika okulwaninira Engabo gye baakoma okuwangula mu 2004. Battunka n’Eng’onge mu kisaawe e Wankulukuku.
Omutendesi waabwe (Olugave), George Ssemwogerere agamba nti aliko essungu olw’ebbanga lye bamaze nga tebawangula ngabo sso nga baali bamanyiddwa nti bawanguzi baayo ba lulango.
Wano w’avudde okuyungula ttiimu gy’ayise kabiriiti okutandika kaweefube w’okuzza ekitiibwa ky’Olugave.
Olukoba alusibidde ku bazannyi abazannyira mu Super okuli; Noah Ssemakula ne Sulait Luyima (aba Villa), Mike Katende (Kagera, Tanzania), Karim Ndugwa (Victors) ne Richard Luyima (Proline).
Oweng’onge akontodde:
Wabula Twaib Ssemwanga atendeka Engo’nge akontodde Olugave bw’agambye nti guno omwaka tebazze kuyisa bivvulu era abazannyi b’alina abeesiga nga mmundu mmenye.
Abamwewaza kuliko; Robert Muganga (eyaguzannyako), Francis Jemba ne Isaac Katwere (aba Victors), Ronald Muganga (Villa), Edward Sembatya ne Chris Lutaaya.
Anaawangula omupiira guno ajja, kuttunka n’Enjovu nga November 8 mu nsiike eneebeera mu kisaawe e Nakivubo.