Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Ssenga
Omusajja ankubye n’ampogola eggumba
Jul 31, 2012
Atuhaire
  • Share
  • mail
  • img

TAATA w’abaana ayitirizza obukambwe. Simanyi kye ng’enda kumukolera.

Yankubye okubula okunzita n’ampogola ekibegaabega era obulumi bwe ndimu buyitirivu.

Nze Patience Atuhairwe, mbeera Namuwongo. Omwami wange yaakava mu kkomera gye yamala emyezi munaana wabula okuva lwe yadda mu maka temuli mirembe.

Yandeka ndi lubuto ne ntoba nalwo okutuusa lwe nazaala era nze mbadde ndabirira omwana waffe mu buli kimu.

Embeera eno tembeeredde nnyangu kuba sirina mulimu gwe nkola wabula nafuba okumulinda kuba nnali mmwagala ku mutima ate ng’atya nti ayinza okudda ng’ebintu byaffe mu nju baabibba.

Bwe yateebwa nawulira emirembe n’essanyu nga ndowooza nti tugenda kuddamu okubeera mu bulamu bwe twalimu sso nga nneerimba.

Omusajja alina obusungu ate tasobola kubufuga. Ku luno twafunyemu obutakkaanya ng’abafumbo wabula ye ensonga yazitutte wala era gye byakkidde nga tulwanye.

Yankubye nga talinaamu na busaasizi bwonna nti ndi maama wa mwana we wadde okujjukira obulumi n’okubonaabona bye mpiseemu ebbanga lyonna lye namala nga mmulinda.

Baagenze okututaasa ng’ekibegaabega kiwogose era ndi mu bulumi buyitirivu.

Ekinnuma nti omusajja wange mmwagala era nsaba Katonda amunkyusize tuddemu okubeera nga bwe twali nga twakalabagana.

blog comments powered by Disqus
Katikkiro Mayiga yanditandikidde ku ki mu kisanja kye nga Katikkiro?
1. Okubanja Ebyaffe
2. Okuzzaawo amasiro n’okutumbula ebifo eby’obuwangwa
3. Kuteekawo pulojekiti z’ebyenkulakulana mu bavubuka ba Buganda
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: