Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Amawulire
Atolose ku bba ekiro abayaaye ne bamusobyako
KYENGERA | Aug 01, 2012
Poliisi n’abadduukirize nga bayamba Nanziri. Wakati ye bba Luswata.
  • Share
  • mail
  • img

Bya Ali Kizza  ne Hafswa Nankanja     

OMUKAZI eyatolose ku bba n’agenda mu bidongo okulya obulamu agudde mu gayaaye ne gamusobyako ne gamuleka ng’aliko kikuba mukono.

Omukyala (amannya gasirikiddwa) muka Badru Luswata ow’e Kyengera Mugongo mu disitulikiti ya Wakiso ye yasangiddwa ku kasasiro we yasuuliddwa ng’amaze okusobezebwako.

Omu ku batuuze eyabadde akedde okuyiwa kasasiro mu kifo kino ye yasanze omukyala ono ng’agalamidde ku kasasiro ng’olulimi lumusowose takyategeera biri ku nsi n’akuba enduulu abantu ne bakung’aana.

Luswata omukozi wa takasi  yategeezezza, “Nakomyewo awaka ng’ava okukola ku ssaawa 5:00 ekiro ne simusangawo ne ssifaayo nga maanyi aliko w’alaze akomawo. Engeri gye nnabadde nkooye, nawummuddeko otulo ne tutwala. Nasisimuse bukedde nga bankonkona nti mukyala wange bamusanze ku kkubo kwe yasuuliddwa nga bamaze okumusobyako,” Luswata bwe yannyonnyodde.

Yagambye nti abadde aludde ng’alabula mukazi we okukomya okutambula ekiro wabula nga yeerema era n’okusobezebwako kigambibwa nti yabadde ava kucakala mu kifo ekiyitibwa “Afaayo” e Kyengera.

Abatuuze baategeezezza nti  ekifo kino ekisanyukirwamu ekyo buli lwe kikola wabeerawo abakazi abasobezebwako era Nanziri kati waakusatu ku bakoleddwaako effujjo.

Atwala poliisi y’e Kyengera, Simon Kabira yategeezezza nti banoonyereza abantu abaakoze ekikolwa kino. Yagguddewo omusango ku fayiro SD:05/31/ 07/2012.

blog comments powered by Disqus
Katikkiro Mayiga yanditandikidde ku ki mu kisanja kye nga Katikkiro?
1. Okubanja Ebyaffe
2. Okuzzaawo amasiro n’okutumbula ebifo eby’obuwangwa
3. Kuteekawo pulojekiti z’ebyenkulakulana mu bavubuka ba Buganda
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: