Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Amawulire
Museveni awaddeyo obuwumbi 2 eri Amasiro
Kampala | Aug 01, 2012
Museveni (ku ddyo) ng''akwasa Katikkiro Walusimbi cceeke ey''obuwumbi 2 eggulo.
  • Share
  • mail
  • img

Bya Ahmed Mukiibi, Muwanga Kakooza Ne Ahmed Kateregga

PULEZIDENTI Museveni yasisinkanye abamu ku babaka ba Palamenti ab’akabondo ka Buganda n’abalabula ku byobufuzi ebyesigamiziddwa ku mawanga n’okutemaatema mu bantu kubanga kya bulabe eri eggwanga.

Akafubo k’ababaka ne Pulezidenti Museveni eyabadde yaakadda okuva mu Angola kaatandise ku ssaawa 11:00 ez’olweggulo ne kaggwa mu matumbi budde.

Wabula abamu ku babaka b’akabondo ka Buganda baazize okusisinkana Pulezidenti nga bagamba nti yabaguddeko bugwi ate nga tebabayise mu butongole n’okubabuulira kye yabadde abayitidde.

Ababaka abamu bazize akafubo:

Nga tebannasitula kugenda Ntebe okusisinkana Pulezidenti ababaka ba Buganda baasoose kusisinkana ku Palamenti era waabaddewo okuwaanyisiganya ebisongovu ng’abamu bagamba nti tewali nsonga ebagaana kugenda wa Pulezidenti ate abalala nga bagamba nti tebalina budde bwa kutuula mu bufubo obw’okunyumyamu obunyumya n’okunywa caayi.

Abaagenze baakuliddwa Ssentebe w’akabondo  Godfrey Kiwanda, kwabaddeko Latif Sebaggala, Minisita Amelia Kyambadde, Haruna Kasolo, Nakato Kyabangi, Anifa Kawooya, Najjemba Muyinda, Theodero Ssekikubo n’abalala.

Abataagenze ye; Betty Nambooze, Dr. Lulume Bayiga, Mathias Mpuuga, Mohammad Nsereko, Ssemujju Nganda, Ken Lukyamuzi, Joseph Ssewungu, ne Brenda Nabukenya.

Nsereko yagambye nti tewali kyetaagisa kuteesa ne Museveni mu bya Buganda kubanga bateesezza okumala emyaka egisukka mu 20, ebirina okuddizibwa Buganda ne ssente z’ebanja gavumenti bimanyiddwa, Pulezidenti ky'alina okukola kubiwaayo n’okussa ssente mu Bajeti.

Wabula Kawooya  yagambye nti "Tulina okugenda, Ssaabasajja yalagidde enteeseganya zigende mu maaso." 

Bwe yabadde tannasisinkana babaka, Pulezidenti yakwasizza Katikkiro wa Buganda JB Walusimbi, cceeke ya buwumbi bubiri ez’okuyambako mu kuddaabiriza amasiro g’e Kasubi.

Katikkiro Walusimbi yabadde n’omumyuka we Haji Ssekimpi, Ssabalangira Moses Kayima, Nnaalinnya w’amasiro Gertrude Tebattagwabwe ne yinginiya Kibuuka. Ate oludda lwa Museveni kwabaddeko baminisita Ephrahim Kamuntu, Lukia Nakadaama ne Sulaiman Madaada n’omuyambi wa pulezidenti ku by’obufuzi Moses Byaruhanga wamu n’omuwabuzi we ku nsonga za Buganda Robert Ssebunnya.

Tukyetaaga ensimbi ku Masiro - Katikkiro

Katikkiro Walusimbi yagambye nti beetaaga obuwumbi buna n’obukadde 800 okuzzaawo amasiro. 

Yagambye nti Museveni abawaddeko bubiri, UNESCO n’ebawa akawumbi kamu n’obukadde bubiri, ate Buganda n’esonda obukadde 70. Kino kitegeeza nti waba wabulayo akawumbi kamu n’obukadde 100 nazo pulezidenti ze yagambye nti ajja kuzibawa Buganda ng'ezibuliddwa.

blog comments powered by Disqus
MICHO: ‘Nzize kutuusa Cranes mu nsi ensuubize’ . Olowooza Micho anaatuusa Cranes mu nsi ensuub
Ye
Nedda
Simanyi
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: