EMIVUYO n’obubbi tebiri mu bibiina byamizannyo byokka wabula biviira ddala waggulu mu kakiiko ka NCS.
Eng’endo z’abakungu ba NCS abagenda e China n’e South Afrika, baazibaliriddemu obukadde 108 ate ng’ababakyaza baabasasulira ez’okusula, okulya n’entambula.
Boodi ya NCS yeekutuddemu, abangi bawakanya ensimbi ezo ate abatono abatagambwako, baagala ziyisibwe, ekitadde emizannyo gyaffe awazibu.
Abakungu bana bagenda China n’abalala bana bagende mu South Afrika kyokka eng’endo zaabwe tezirina kalungi konna okuggyako okwongera okuzza emizannyo emabega.
Ssentebe wa NCS, Anthony Katamba wadde mukozi wa MTN, yandibadde akitegeera nti wadde kkampuni ye yatereeza ekitebe kino okukizza ku mutindo, si y’erina okuwa ebiragiro.
Pulezidenti Museveni yayitibwa nga kiggulwawo era n’asiima MTN kyokka kiringa ekyasigala mu mikono gya MTN mu kifo kya NCS, gino gyonna emivuyo Minisita Bakkabulindi tagiraba?
Pulezidenti bwe yali asiibula ttiimu ya Uganda eya Olympics, yabuuza lwaki abakungu bangi okusinga abazannyi nga batunula.
Bwe kituuse ku ssente buli omu z’alina okufuna, abakungu bafuna kumpi kakadde kamu ate abazannyi mitwalo nga 15, bino byonna simanyi oba Minisita abigoberera.
Minisita bw’aba waakutereeza mizannyo, alina okugoba abamu ku bakungu mu mizannyo omuli aba UOC, NCS n’ab’e Nakivubo kuba abasinga bakolerera mbuto zaabwe.
Aba FUFA mwebale kuteekateeka Hippos bulungi n’ewangula Ghana. Pulezidenti Mulindwa, Anthony Kimuli, abatendesi Paul Nkata ne Abdallah Mubiru n’abazannyi mwebale.
kateregaya@yahoo.com: 0705669837/0701077016