Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Kasalabecca
Bano okwolesa emibiri baagufuula mulimu
Aug 03, 2012
Abamu ku bawala mu bugoye obuwugirwamu mu kiro kya '''''''''''''''''''''''''''''''''''''''''''''''''
  • Share
  • mail
  • img
Bya MARTIN NDIJJO ne JOSEPHAT SSEGUYA
 Obadde okimanyi nti kati mu Kampala abawala okulaga ebisambi n’amabeere bagufudde mulimu mwe baggya ekyokulya? Abawala bano bakeera bukeezi ne beebuuza wa gye banneeyambulira okwefunira ku ssente bbo ze bayita ez’endola!
                                     Omuwala nga assa abasajja amabbabanyi mu kiraabu
Ez’endola?! Abamu bwe beebuuza, naye ate bbo okweyambula tebakirabamu lusozi anti abamu babawa 5,000/- okutemya n’okuzibula nga basigadde mu buwale bwa munda n’obuleega olwo ne ‘bamodola’.
 
KIVUDDE KU KI?
Ensonga ziwerako ezeeyambuza abawala bano naye  ng’esinga evudde ku kuvuganya okw’amaanyi okuli mu mabaala naddala ag’ebbeeyi n’eby'enfuna. Bbo abadigize abali ba kaasi naddala abasajja, banoonya awali ebisanyusa ‘fun’ soma ffaani. Era eno baggaayi abamu beeyunirayo nnyo olw’essanyu eringi lye bafunirayo n’abamu ne ‘balonda amakubo’ mannya okukwana ebyana bino. Buli kiro ekibaamu abawala abambadde obukete kijjuza ng’ate okuyingira ssente nnyingi anti batandikira ku 30,000/- okudda waggulu.
                   Ebyana biwala nga byesaze obukete obulaga emibiri.
 
OBUKODYO AB’EBBAALA BWE BAKOZESA
Mu kuvuganya mu mabaala, abagaddukanya  baleese obukodyo obulala nga muno mwe muli okussaawo ebiro ebituumiddwa amannya ag’enjawulo  nga n’ebikolebwamu  bya njawulo. Mu bimu  ku biro bino mulimu ‘Bikini Night, Bahamas, Caribbean night, Nurses and Doctors n’ebirala’.  Bikini night, Bahamas ne Caribbean bisanyusa nnyo abadigize kubanga abawala 60 ku 100 babeera mu bukete.
 
                            Ebyana nga bisaazeko Bobi Wine.
 
B’ANI ABASINZE OKUBYENYIGIRAMU?
Abawala abasinze okwenyigira mu mulimu guno b’ebo aboolesa emisono (Models) era bano beesala obugoye obwakazibwako erya ‘kookoonyo’. Waliwo abeeyambula ne basigala mu buwale obw’omunda kyokka abamu olw’okuba n’ensonyi, bambala obukookolo ku maaso olwo ne batandika okutambula ku siteegi n’okuzina ng’eno abalabi banyumirwa.
 
Abawala bano abasinga balina ffiga ez’omulembe ate nga balabika bulungi, emibiri miweweevu, balina ebisambi ebyamyuka ebitengula emitima gy’abasajja n’okubassa amabbabbanyi.
 
ABAWALA BANO BAVA WA?
Abawala bano abasinga bayizi ku Yunivasite n’amatendekero aga waggulu okuli n’agasomesa eby’emikono. Mulimu n’abafumbo ate abalala tebaafuna mukisa kusoma kutuuka wala y’ensonga lwaki guno kati bagufudde mulimu ogw’enkalakkalira.
                                                     
ENSASULA Y’ABAWALA BANO
Olw’okuba si kyabulijjo omuntu okweyambula n’atandika okwolesa omubiri mu lujjudde, oyinza okulowooza nti abawala bano basasulwa buwanana. Kino si bwe kiri kubanga basasulwa ssente ntono eziri wakati wa 5,000/- ne 200,000/-. N’abategesi balina ebintu eby’enjawulo bye batunuulira kwe basinziira okubawa emirimu n’okubasasula.
 
Abamu  ku bawala bano balina ebibiina bye bakolera (Agencies) omutegesi abeetaaze by’atuukirira ate abalala beekozesa bokka (freelance).
 
MU BINO MULIMU
Endabika n’obulungi bw’omuwala: Olw’okuba nti oteekeddwa okweyambula, ffiga n’endabika yo mu ffeesi bye bimu ku bikweyimirira mu nsasula. Omuwala omulungi asasulwa ssente nnyingi okusinga oyo akutuza endinga ku ttale. Ebbanga ly’omaze mu nsiike y’okwolesa emisono oba obukugu. Abawala abano abasinga bamanyiddwa kubanga balabibwa nnyo mu bifo eby’enjawulo nga boolesa emisono.
 
Kale n’abategesi b’ebiro bino bamanyi kumpi buli omu obukugu bwe mu mulimu guno era eyaakatandika tasasulwa ssente ze zimu n’oyo abiruddemu.
 
             Omuwala nga ayambadde akakookolo aleme okutegerekeka.
 
EBIFO GYE BAGENDA OKUKOLERA

Olw’okuba nti bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu birimu kiraasi, eno ssente ze basaba (ezisasuzibwa bakasitoma) za njawulo okusinziira ku kifo kyogendamu. Okulaba abawala bano basasula wakati wa 3,000/- ne 30,000/-. 

blog comments powered by Disqus
Katikkiro Mayiga yanditandikidde ku ki mu kisanja kye nga Katikkiro?
1. Okubanja Ebyaffe
2. Okuzzaawo amasiro n’okutumbula ebifo eby’obuwangwa
3. Kuteekawo pulojekiti z’ebyenkulakulana mu bavubuka ba Buganda
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: