Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Amawulire
Bukenya avuddeyo ku by'okusikira Museveni:'Entebe ngisobola'
Kampala | Aug 06, 2012
Pulezidenti Museveni(ku ddyo) ne Polof.Gilbert Bukenya.
  • Share
  • mail
  • img

Bya Ahmed Kateregga

EYALI omumyuka wa Pulezidenti Polof.Gilbert Bukenya asoomoozezza Pulezidenti Yoweri Museveni amulaamire obusika bw'obukulembeze, alabe oba taasobole kutandikira w'anaaba akomye awatali kujulirira. Ng'ayogera ne BUKEDDE eggulo,Polof. Bukenya yagambye nti "Nze endowooza n'enkola ya Pulezidenti ngimanyi bulungi era yagintendeka,, bw'aba ng'ekimusiba mu buyinza butalabawo musika alengera wala nga ye, nze wendi ankwase enkasi alabe bwessitwale ggwanga mu maaso? " Yagasseeko nti wabula ye akkiririza mu nkola ya kintabuli ekkirizza nti ensi erina okubaamu abagagga esobole okukulakulana naye nga n'abaavu balina okuyambibwa babweggyemu.                                                 

Yabadde ayogera ku byayogeddwa Pulezidenti ku Lwokuna ng'asisinkanye bakakuyege ba NRM mu Buganda abaakulembeddwaamu Al Haji Abdul Nadduli be yategeezezza nti yandibadde yawummula dda ng'ali ku ddundiro lye e Rwakitura nti kyokka talabawo gw'alekera nkasi. Yagasseeko nti agenda kwerondera ne Ssaabawandiisi okuva Ssaabawandiisi wa NRM aliko Mw.Amama Mbabazi, ate era ye Katikkiro wa uganda, talina biseera bya kiibiina bimala ne bakiwangula mu kulonda kw'okujjuza ebifo ebyereere okuzze kubaawo.

Polof. Bukenya yagambye nti "Pulezidenti alabeyo omuntu omu oba babiri oba basatu abawandeko eddusu, olwo abantu gwe banaalonda nga ye wuuyo ow'okumuddira mu bigere, naye tasobola kugamba nti ye yekka aliwo. Olwo Mukama bw'alimuyita ng'eggwanga likoma awo!"

Ku kya Ssaabawandiisi, Polof. Bukenya era yategeezezza nti anenya Pulezidenti okuddira Ssaabawandiisi n'amwongerako obwakatikkiro bwa Uganda ng'ate baali bakaanya dda mu lukiiko olufuzi nti Ssaabawandiisi tajja kusukka nga kubeera minisita atalina kifo kya nkalakakkalira.
"Pulezidenti talina buyinza bulonda Ssaabawandiisi, wabula bwe waba tewali nsimbi za kutuuza lukiiko tabamiruka, waakiri ayite olukiiko olufuzi lugire nga lulonze ow'ekiseera," bwatyo bwe yategeezezza.

Y'omu ku baavuganya Mw.Mbabazi mu 2011. Abalala baali Maj.Gen.Kahinda Otafiire, Dr.Elijah Mushemeza ne Mw.Theodore Ssekikubo. Mw.Ssekikubo naye yakkaanyizza ne Polof.Bukenya n'agamba nti kikyamu Pulezidenti okugamba nti tewali muntu alina mbavu emuddira mu bigere n'agamba nti alemeddwa okumufuna aleke abantu beesalirewo. "Mu myaka 27, Pulezidenti bw'aba tasobola kulaam,ira muntu yenna busika, ekyo kiba kitegeeza nti naye anenyezebwa," Ssekikubo bwe yagambye kyokka n'ategeeza nti mu 1986 Bannayuganda yasanga bali obukadde 12 kati bali obukadde 36 nti noolwekyo mulina okuba nga mulimu omusika.

Ku kya Ssaabwandiisi Mw.Ssekikubo yagambye nti tekyetaagisa Pulezidenti kulonda mulala ng'ate omumyuka wa Ssaabawandiisi Muky.Dorothy Hyuha w'ali. Kaweefube w’okwogera ne Muky.Hyuha yagudde butaka olw'okuba essimu ye teyabaddeko. Omwogezi wa NRM Muky.Mary Karooro Okurut naye yagaanye okubaako ky'ayogera ku byayogeddwa mukama we ng'agamba nti yabadde yeemalidde ku kujjanjaba bba Stanislas Okurut, omulwadde omuyi, gwe yagambye nti yabadde akubye ku matu.

Omumyuka wa ssentebe wa NRM atwala Buganda Al Haji Abdul Nadduli agamba nti Pulezidenti n'amala addiza Bugandaebimu ku by'ekyabanja ate n'asitula n'embeera za bakakuyege be, mu 2016 tekijja kumwetaagisa kukuba kammpeyini. "Ojja kwesigalira wano, kubanga buli kimu kijja kuba ky'ekola kyokka, okuggyako okujja okuwuubira obuwuubizi ku balonzi," bwatyo bw'agamba ng'awagira Museveni akomewo mu 2016. 

 Hon.Ssekikubo ow'e Lwemiyaga county.

blog comments powered by Disqus
MICHO: ‘Nzize kutuusa Cranes mu nsi ensuubize’ . Olowooza Micho anaatuusa Cranes mu nsi ensuub
Ye
Nedda
Simanyi
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: