Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Ebyemizannyo
Ffirimbi y’omuwagizi bw’etabula omupiira ddiifiri aguyimiriza
Kampala | Aug 07, 2012
  • Share
  • mail
  • img

DDIIFIRI akola ki ng’omuzannyi akwatidde omupiira mu ntabwe ya peneti oluvannyuma lw’okuwulira ffirimbi ne kizuulwa ng’efuuyiddwa muwagizi?

Omupiira guzannyibwa ku kisaawe era teguyimirira okuggyako nga gufulumye ebweru w’ekisaawe oba nga ddiifiri afuuye effirimbi okuyimiriza omuzannyo. Ddiifiri yekka y’alina obuyinza okuyimiriza omuzannyo era abazanyi balina kuzanyira ku (ffirimbi) biragiro bye byokka.

Omuzanyi ne bw’alaba akatambaala ka ‘layina’ mu bbanga, talina kuyimirira okutuusa nga ddiifiri ayimirizza omuzannyo! Akatambaala kabeera ka ddiifiri, kubanga gwe kayamba!

Omuzannyi bwe yeefuuwa, nga tewali kubuzaabuzibwa kwonna, ddiifiri akola ekyetaagisa mu budde obwo naye etteeka liragira ddiifiri obutakkirizza bazannyi kubuzaabuzibwa.

Okugeza ffirimbi bw’evuga okuva mu bawagizi, ddiifiri n’akirabira ddala nga y’evuddeko omuzannyi okukwata omupiira ogwo, mu buli ngeri alina okuyimiriza omuzannyo, n’akola ‘drop ball’ (okukasuka omupiira mu bbanga abazannyi ba buli ludda ne bagulwanira). Tasobola kugaba peneti kubanga ffirimbi y’omuwagizi y’eba etaataaganyizza omuzannyo.

alitomusange@yahoo.com
0772624258

blog comments powered by Disqus
Katikkiro Mayiga yanditandikidde ku ki mu kisanja kye nga Katikkiro?
1. Okubanja Ebyaffe
2. Okuzzaawo amasiro n’okutumbula ebifo eby’obuwangwa
3. Kuteekawo pulojekiti z’ebyenkulakulana mu bavubuka ba Buganda
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: