Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Eby’obusiraamu
Abagaana okutoola Zakah mulinde Allah - Muzaata
Kampala | Aug 10, 2012
Sheikh Muzaata
  • print
  • mail
  • img

Bya SHEIKH NUUHU MUZAATA

ABASIRAAMU bakubiriziddwa okujjumbira okuwa omusolo gw’Obusiraamu (Zakatir ) ziyambe ku Bamaseeka okuddukanya emirimu gy'Obusiraamu. Sheikh Nuuhu Muzaata Batte bino yabyogeredde ku mukolo ab'ekibiina kya Trust Family kwe baakwasirizza Disitulikiti Kadhi wa Mpigi, Sheikh Abul Wadda mmotoka gye baamugulidde asobole okuddukannya emirimu gy'Obusiraamu mu kitundu kino.

Muzaata yagambye nti ku mulembe guno, Abasiraamu bagayaaliridde nnyo ebbanja lya Katonda lino ery'okuggya mu mmaali yaabwe omusolo guno ne baguwaayo eri abakulembezeb'Obusiraamu gusobole okukola ku nsonga ezitali zimu. "Mugaanyi okutoola mu mmaali yammwe omusolo gwa Katonda, naye mwerabidde nti asobola okusaanyaawo obugagga bwammwe bwonna lwa kujeemera nsonga eno,"

Ye Hajji Bulaim Muwanga Kibirige (BMK) omumyuka wa Ssentebe wa Trust Family, yagambye nti ekibiina kino kitandiseewo enkola eno nga buli mwaka bajja kugulanga mmotoka emu bagiwe Disitulikiti Khadi atalina ntambula. Omukolo gwabaddewo mu maka ga Hajji Kaddu Kiberu Ssentebe w'ekibiina kino.
 

blog comments powered by Disqus
NoImage
Nnamungi w'omuntu atambulira ku beesimbyewo ku Bwapulezidenti ategeeza buwanguzi oba kukyamuukiriza
Ye
Nedda
Simanyi
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Noimg Developed by: logo