Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Amawulire
Abasiraamu bazingizza omuyimbi ne bamusalako amalaasi
Kampala | Aug 12, 2012
Muwonge nga bamuwalawala okumuggya awaabadde mmotoka ye mu paakingi
  • Share
  • mail
  • img

Bya Procopios Lumu                              

ABASIRAAMU batabukidde omuyimbi  Eddy Muwonge owa G.force  ne bamusalako amalaasi  nga bagamba nti okukuza enviiri kikontana n’eddini y’Obuyisiraamu.

Bino byabadde ku muzigiti e Wandegeya  Eddy Muwonge bwe yabadde agenze okusaala Juma ku Lwokutaano. Okusaala bwe kwawedde, agambibwa okubeera kojjawe,  Yusuf Tamale n’amubuuza ekimusibisa amalaasi ekikonatana n’Obusiraamu n’amulabula nti bandimuzaalukuka.

Kyokka abamu ku basiraamu kino bakiwakanyizza nga bagamba nti kasita amanyi eddini ye nti era akkiririza mu Busiraamu.

Abakiwakanya baalabye biri bityo kwe kugenda mu paakingi okumpi n’Omuzigiti Muwonge we yabadde alese mmotoka ye ne bamuteegera awo era bwe yatuuse ne bamukwata nga bwe basaakaanya nti ‘Allah wakibaalu’ olwo ne batandika okumusalako amalaasi. Bwe baamaze kwe kukuba enduulu okutegeeza nti bawangudde. 

Tamale yategezeezza nti amateeka g’Obusiraamu tegakkiriza kukuza nviiri kuba kino kikontana n’okufuna ‘wuzu’. Agamba nti  Nabbi Muhammed  yalina irevu si nviiri.

Yagasseko nti nga bwe guli mwezi gwa kwetukuza enviiri baazisazeeko n’ajuliza nti singa Muwonge abadde Mekka yandikubiddwa kibooko.

Tamale yakuutidde Muwonge yeeyise ng’abayimbi banne Abasiraamu okuli, Hiji Haruna Mubiru Kitooke, Sofia Nantongo ne Hajjati Madiina  Bibuuza kuba Obusiraamu tebukontana na bitone.

Muwonge yakkaatirizza nti  mugoberezi wa Allah nti ebyo Kojjawe byaliko bikadde. Muwonge ye yayimba, Odda mabega, Si byangu ne Better yo n’endala.

blog comments powered by Disqus
Katikkiro Mayiga yanditandikidde ku ki mu kisanja kye nga Katikkiro?
1. Okubanja Ebyaffe
2. Okuzzaawo amasiro n’okutumbula ebifo eby’obuwangwa
3. Kuteekawo pulojekiti z’ebyenkulakulana mu bavubuka ba Buganda
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: