Bya KIZITO MUSOKE
MINISITA w’amateeka era Ssaabawolereza wa gavumenti y’e Mmengo, Apollo Makubuya ayanukudde Hajji Nadduli agamba nti, abakungu e Mmengo be balemesezza Buganda okufuna ebyayo n’agamba nti, “Enteekateeka y’okuddiza Buganda ebintu bino wadde yali ekoleddwa ffe, nga Mmengo tetwandigenze nayo mu maaso nga tugenda mu kalulu (aka 2011 yali ebula lumu kakubibwe) kuba kyanditwaliddwa ng’okuyingiza Ssaabasajja mu byobufuzi ate NRM ky’esiiba evumirira.
Kifaanana ne Kabaka okukwasa Dr. Kiiza Besigye owa FDC oba Olara Otunu owa UPC satifikeeti ng’enkeera kwe kulonda era nakyo ekitasoboka kuba nakyo kyanditunuuliddwa nga eky’ebyobufuzi.
Kikyamu okukissa ku Kabaka oba abakungu be nti be baalemesa enteekateeka yonna ey’okuddiza Buganda ebintu byayo.
Mu 2005, eyali Katikkiro wa Uganda Polof. Apollo Nsibambi yagamba nti, gavumenti yali emalirizza entegeka ez’okuddiza Mmengo embuga zaayo kyokka na buli kati tekikolebwanga.
Nze nnemesezza kino? Nadduli asinziira wa okukinteekako nti nnemesa? Ebikolebwa Nadduli ne banne beenoonyeza byabwe era biringa ebigenderera okunafuya Nnamulondo.
Nadduli okuvaayo kati ku nsonga y’embuga kyokka nga yasirika busirisi Kabaka bwe yakugirwa okugenda e Bugerere n’e Buluuli ssaako okuggalirwa kw’abantu ba Ssaabasajja kkooti be yayimbudde nga tebalina musango alina by’anoonya.”