KU Ssande eno nsaba twebuulirire ku kigambo Mukama waffe ky'adding'ana mu njigiriza ze ezisinga. Mukama waffe bulijjo atujjukiza nti ye mugaati oguva mu Ggulu.
Mu Vangiri gye tunaawulira (Yoanna 6, 41-51). Mukama waffe adding'ana ekintu ky'ekimu. Buli lw'ayigiriza ku kintu kino eky'okweyita omugaati oguva mu Ggulu aba ayagala tugwawule kw'ogwo gwe tulya nga tuguggya mu nsi.
Ayigiriza nti buli alya ogugwe abeera mulamu era taddayo kulumwa njala oba ennyonta. Omugaati gwe tulya bulijjo guggwaawo ate ne tuddamu okulumwa enjala era y'ensonga lwaki tugugujubanira ne tugulwanira, buli omu n'ayagala afune ekisinga ku kya munne.
Mu ssomo erisooka mu kitabo ekisooka ekya Bassekabaka (19, 4-8) Elia eyali mu lugendo okutuuka ku lusozi Oreb yali aterebuse mu Ddungu anti ng'afa enjala ng'omugaati gumuweddeko okutuuka Omukama bwe yamuwa ogugwe n'addamu amaanyi era n'atuuka ku lusozi Oreb.
Bakristu baganda bange, bino ffenna ng'Abakristu bituyigirize tuleme kufugibwa mugaati guno gwe tuyaayaanira ne gutuziba amaaso ne tulema okutegeera nti guggwaawo.
Singa tutwala ekiseera ne twebuulirira ku bizibu ennaku zino bye tusanga mu bulamu buno, oluusi ne bitusindika okubuza bannaffe emirembe, abamu kuffe ne twesanga nti tuli mu nsi erowooza nti omuntu gy'akoma okuba n'omugaati guno gy'akoma n'okulowooza nti ye muntu okusinga abo abalina omutono.
Paulo mu ssomo eryokubiri (Efeezi 4, 30-5, 2) atulabula n'atugamba nti mutambulire mu kwagalana nga Kristu bwe yakola.
Awo nno, twewale okufugibwa omugaati guno oguggwaawo kuba bwe gutufuga gutusindika kukola ebikolwa ebirumya bannaffe.
Bakristu baganda bange tujjumbire Kristu omugaati oguva mu Ggulu y'aba afuga obulamu bwaffe.