Bya Basasi ba Bukedde
KYADDAAKI omuddusi Steven Kiprotich afunidde Uganda omudaali ogwa zaabu.
Kiprotich 23 omuddusi w'emisinde gya Marathon asangudde Bannayuganda amaziga oluvannyuma lw'okumala emyaka 40 nga teroza ku mudaali gwa zaabu mu mpaka z'emizannyo gya Olyimpics.
Kiprotich addukidde essaawa 2:08:01 n'addirirwa Bannakenya Kirui mu kyokubiri ne Kipsang mu kyokusatu.
Guno gwe mudaali Uganda gw’esoose okufuna mu Olympics mu myaka 16 ate gwe gwa zaabu ogusoose mu myaka 40 ate era gwe gusoose mu gy’okwetooloola ebyalo (marathon).
Omudaali gwa zaabu ogwasooka eri Uganda gwawangulwa John Akii Bua mu Olympics z’e Girimaani mu 1972. Gwali mu mbiro za mita 400 ez’okubuuka obusenge (hurdles) n’assaawo ne likodi y’okuziddukira sikonda 47.82.
Abalala abaleetedde Uganda emidaali kuliko; Eridad Mukwanga (bikonde) eyawangula feeza mu 1968, Leo Rwabwogo (bikomo) eyafuna ekikomo mu za 1968 ne 1972), oweebikonde John Mugabi (feeza, 1980) n’omuddusi Davis Kamoga eyatwala ogw’ekikomo mu 1996 e Atalanta..
Ebyafaayo bya Steven Kiprotich:
- Yazaalibwa Kapchorwa nga February 21, 1989. Wa myaka 23.
- Ye muggalanda mu famire ey’abaana omusanvu.
- Muddusi wa mbiro mpanvu naddala ez’okwetooloola ebyalo.
- Ku myaka 17, yasengukira e Eldoret mu Kenya.
Ebirala ku Kiprotich........................
Weegatte ku Vision Group tudduukirire Stephen Kiprotich
Kiprotich ayogedde ebyamuyambye okuwangula zaabu
Ekirabo ky'amefuga: Kiprotich kyawadde Uganda
.........................................................................................................................................................

Kiprotich ng'ajaganya mu ngeri y'okwebaza Katonda okumusobozesa okuwangula omudaali gwa zaabu