Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Amawulire
Bebe ajereze Bobi n'eryato lye: 'Nze sirina budde bwa baana bato nga Bobi'
Kampala | Aug 13, 2012
Eryato lya Bobi nga bwe lifaanana kungulu.
  • Share
  • mail
  • img

Bya Martin Ndijjo

OMUYIMBI Bobi Wine ayongedde okuwa bwino akwata ku lyato lye yaguze n’ayanukula abagamba nti si lirye nti boogeza butamanya na bwavu.

“Buli muntu waddembe okwogera ky’awulira ne ky’ayagala, abagamba nti eryato si lyange sibanenya kubanga nange bwentyo bwe nayogeranga edda nga nkyali mu mbeera eyo naye ebintu bikyuka. 

Agamba nti eryato lye  baliyita Regal Sport Yacht,  yaliguze  mu Amerika e Miami ekisangibwa mu ssaza ly’e Florida okuva mu kkampuni ya Regal Boats.

Ssente ezaaliguze

Agamba nti ekirowoozo ky’okugula eryato lino yakifuna mwaka guwedde bwe baali mu Amerika ku honeymoon yaabwe ne Barbie era n’anoonyereza ebirikwatako ne kkampuni egakola.

EryaBobi Wine ng'atudde ku lyato lye. Ekif: Josephat Sseguya

Wano ng'alaga esswaga mu lyato lye. Ekif: Josephat Sseguya

Bobi ne Barbie nga barya obulamu mu lyato lyabwe. Ekif: Josephat Sseguya

“Nayogera n’aba Regal Boats ne mbabuulira eryato lye njagala bankolere n’ebintu bye baba bateekamu era lye bankoledde”

Eryato lino erya langi enjeru lirimu ekisenge ky’abagenyi ne ‘master’s bedroom’, effumbiro, kaabuyonjo, ekifo ky’oyinza okuyita ekisanyukirwamu omuli emizindaalo ne leediyo, tivvi, firiigi n’ebirala.  

Bobi agamba nti lyamumazeko akakadde ka doola kamu okuligula n’okulituusa kuno; 

Yaliguze doola 750,000. Emisolo mu Amerika - doola 30,000

Okulitambuza okulituusa mu Uganda agamba lyamumazeeko  obukadde bwa Uganda 175. Omusolo gwe yasasudde URA gwa bukadde 360 mu za Uganda.

“Obulamu bwange mbutambuliza mu mbeera ya lukale  y’ensonga lwaki naliraze abantu. Abagamba nti si lyange boogere nnyiniryo ate bwe wabaayo alina ky’alibanjaako aveeyo mu lwatu ayogere”.

 Barbie ng'awoomerwa effuta mu lyato. Ekif: Josephat Sseguya

Wano nga yeebase ku mazongoto eri mu lyato lino. Ekif: Josephat Sseguya

Ekitundu ky'effumbiro ery'omulembe mu lyato. Ekif: Josephat Sseguya

Bobi agamba nti tayinza buteewaanira ku bayimbi banne bwe bavuganya ng’aguze eryato ery’ebbeeyi kubanga bamujerega mmotoka ye ey’ekika kya Escalade bwe yavaako omupiira ne bagiyita ganyegenya.

Yagasseeko nti “Bannayuganda ate saagala balabe kino kye nkoze nga eky’amaanyi ennyo ne be kinyiizizza baleme kunyiiga nnyo kubanga abantu nga Lionel Messi ne David Beckham (abasambi b’omupiira) amaato ag’ekika kino baagavuga tebannaweza myaka gyange. Kati nzirako kuleeta nnyonyi ekika kya Helicopter”

Ayongerako nti eryato lino yaliguze nga lirye, famire ye n’emikwano era tagenda kulipangisa. 

Ebirala ku Bobi ne Bebe......................

Bobi aguze eryato lya bukadde 450 n'ajerega Chameleon ne Bebe Cool

Olutalo lwa Bebe ne Bobi lusajjuse

Olutalo lwa Bobi Wine ne Bebe Cool lutadde abawagizi ku bunkenke

Abantu basazeewo eggoye ku Bebe ne Bobi

Ani yaliddde? Bobi Wine ne Bebe Cool boogedde

.............................................................................................................................................................

Bebe ayogedde ku lyato lya Bobi

Bebe Cool bwe twamubuuzizza ky’ayogera ku nsonga eno, yajereze Bobi Wine nti yeewuunya okulaba omuntu eyeewaanira ku bintu ebitali bibye nti okuyimba kumulemye kati anoonya  amawulire gamwogereko.

“Nze sirina budde bwa baana bato nga Bobi, nnina bwa kukuba miziki na bwa mwana wange gwe baazaalidde mu Amerika ne mukyala wange Zuena. Tewali atakimanyi nti eryato Bobi lye yeewanyisa si lirye. Nnyini lyo tumumanyi, okwo yeekubisirizaako bifaananyi kati asiba bantu kiwaani. Akaato ke tukamanyi kakadde era tekasussa na bukadde 16 kanaatera na kuvaako bbampa egwe mu mazzi nga mmotoka ye,” Bebe cool bwe yagambye.

Bobi ne Barbie nga bawujjaddemu mu lyato lyabwe.

Bobi ng'agalaamiriza ku buliri 

Bobi ne Barbie mu lyato

Bobi ne Barbie nga banyumirwa obulamu mu lyato. Ebif byonna Josephat Sseguya

Bobi tetumubanja - URA

Mu kwongera okukakasa oba ddala eryato lino lya Bobi era nga yalisasulidde n’omusolo,  twayogedde n’omu ku bakungu mu kitongole kya URA avunaanyizibwa ku kukung’aanya emisolo gy’omunda mu ggwanga.

Yasoose kutegeezezza nga mu mateeka bwe kitakkirizibwa kwasanguza byama bya muwi wa musolo kyokka oluvannyuma yategeezezza nti okusinzira ku biwandiiko byabwe, Bobi tewali  kye bamubanja era y’omu ku Bannayuganda abasasuzi b’omusolo abalungi ng’alina n’ebintu bingi by’asasulira omusolo.

blog comments powered by Disqus
Katikkiro Mayiga yanditandikidde ku ki mu kisanja kye nga Katikkiro?
1. Okubanja Ebyaffe
2. Okuzzaawo amasiro n’okutumbula ebifo eby’obuwangwa
3. Kuteekawo pulojekiti z’ebyenkulakulana mu bavubuka ba Buganda
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: