Bya Angel Lubowa ne Ahmed Mukiibi
OLUKALALA lwa baminisita olupya Pulezidenti Museveni lwe yafulumizza eggulo lwewuunyisizza Hajji Sebaggala n’agamba nti yeewuunya Museveni okumuweesa ddyo ate n’amuggyisaako kkono.
Yagambye “mu butuufu Museveni simutegedde, yampa obwaminisita kyokka Palamenti n’enyenyamu era ne muwandikira atangaaze ku nsonga zange kubanga yali esinga kufa ku bwesimbu okusinga obuyigirize kyokka teyagiddamu nange tampuunanga”.
Yannyonnyodde nti bwe kibeera “kiwaani, omukulu yakinsiba ne kinywerayo kubanga toyinza kukola munno bw’otyo n’omuleka mu bbanga”.
Kyokka yagambye nti ddembe na buyinza bwa Pulezidenti Museveni okulonda abantu be nga bw’abeera alabye wadde nga ye amulese tamutegedde nti waakiri mu bbanga ery’omwaka omulamba n’ekitundu bukya ekifo kye eky’obwaminisita wa guno na guli babwekiikamu yandibadde amukubidde essimu oba okumuwandiikira n’amanya ekiriwo.
Ku nsonga y’Obusiraamu, Sebaggala Seya era yagambye nti tekyabadde kya bwenkanya ebifo bye baali bafunye ekikye n’ekya Hajji Muyanja Mbabaali okubafa bwe bityo nti waakiri era Pulezidenti yandibirondeddemu Abasiraamu.
Kwe kugattako nti bwe weetegereza ensonga eyo oyinza okuggyayo enjongera y’Abaganda nti , .. “Tufuuse balungi mirimu, babi kulya” nti anti bwe bituuka mu mirimu Abasiraamu babamanya naddala mu bululu kyokka okugabana bwe kusembera olwo tebabamanyi.
Sebaggala y’omu ku baakoma ku munaabo bwe yasubwa obwaminisita Museveni bwe yali amuwadde ng’ategese n’obubaga kwe yali ayise n’abamawulire kyokka Palamenti n’emulemesa.
NAJJEMBA MUSANYUFU
Kyokka Rose Najjemba (Gomba) eyalondeddwa ku bwaminisita bw’eggwanga ow’ebyenkulaakulana katono essanyu limwabye bwe yategedde ku kulondebwa kwe era yategeezezza nti n’abalonzi be katono bamusse amasimu nga bamuyozaayoza.
Yagambye nti “ndi musanyufu kubanga mbadde sikisuubira omanyi bingi ebyogerwa nti gundi y’asaanidde oba oli kale Pulezidenti bw’abeera anneesize sigenda kumuyiwa ne Bannayuganda bonna.” Yagasseeko nti obubaga bwa luvannyuma ng’amaze okuyita mu kakiiko ka Palamenti akabakakasa.
KAKOOZA TALINA BUZIBU
Ate omubaka James Kakooza (Kabula) gwe baagoba ku bwaminsita w’ebyobulamu nakyo ekyatwaliddwa yategeezezza oluvannyuma lw’okufuna amawulire nti takirinaako buzibu kuba Pulezidenti y’alina obuyinza okulonda nga bw’abeera ayagadde.
KAMBA AWAABYE
Wabula munne Saleh Kamba (Kibuku) gwe baasuuza obwaminisita wa Bunyoro yagambye nti Palamenti yakikola mu bukyamu era amaze okukola entegeka okugitwala mu kkooti ebitebye. Yagambye nti “toyinza kugamba nti sirina buyigirize bwetaagisa kubanga ne kkooti ejulirwamu yannejjeereza ku musango ogwo”.
Yagambye kikafuuwe okuleka ebintu nga bwebyamuteekebwako nti palamenti eyapapa n’emufiiriza obwa minisita agenda kwabika nayo mu kkooti.
’ABASIRAAMU BATUSEDDE’
Omwogezi w’Obusiraamu e Kampalamukadde, Hajji Nsereko Mutumba yategeezezza nti beewunya okulaba nga ne bwebemulugunya nti baserebwa ebifo tebafibwako ng’ate bannabwe abenzikiriza endala buli kaseera bapokerwa agafo.
“Ffe twewuunya bwewuunya, twemulugunyizza ekimala naye tetufiibwako nga balinga abagamba nti ffe tetuli Bannayuganda, oba baagala tugende mu mawanga malala, simanyi naye ekirungi 2016 teri wala naffe tujja kulowooza ku bayinza okutufaako,” Mutumba bwe yategeezezza.
OLUKALALA LWA KABINETI EMPYA