Bya HASFAH SSONKO
OKUSIKA omuguwa wakati wa FUFA ne kkampuni ya Uganda Super-League Limited (USL) ku bwannannyini bwa liigi ya babinywera kuzzeemu buto.
FUFA, ekulemberwa Lawrence Mulindwa, eggye liigi ku USL n’egiwa FUFA Premier League Limited, eyeegattiramu bassentebe ba kiraabu 16 eza Super.
Ssentebe w’akakiiko akassibwawo FIFA, FUFA, USL ne kiraabu, okutereeza entambuza ya liigi, yategeezezza abaamawulire eggulo nti bassentebe ye; Fred Muwema (Villa), Bbaale Mugera (Express), Ali Ssekatawa (URA), Mike Okua (KCC), Tadeus Kitandwe (Bunnamwaya), Vincent Ssempijja (Masaka LC), Anthony Kimuli (Ntebe Young), Assan Kasingye (Police), Tommy Ochieng (Prisons) Hussein Adda (Simba) ne Kibuuka Kyobe (Water FC).
Abalala ye, Eria Silver (BIDCO), Jimmy Lukwago (Kira Young), Habib Kagimu (Proline), Tom Rwemazzi (Victors) ne Simo Dubajic owa Victoria University.
FUFA Premier League Ltd yakkirizza okulondawo akakiiko ka bantu bataano abatalina kakwate ku kiraabu 16 kaddukanye liigi.
Wabula omwogezi wa USL, James Ssekandi, yagambye nti liigi ekyali yaabwe era ng’ejja kutandika nga September 14.