Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Ssenga
Kamunye aleeta ag’emugga?
Aug 17, 2012
  • mail
  • img

Ssenga wamma kamunye aleeta amazzi g’ekyama? Kino nnakiwulira ku mikwano gyange. Nnyamba kuba sikyagenda mugga?  Nze Mirembe

Mwana wange Mirembe ng’olabye n’ekizibu kino. Okusookera ddala, omukazi okufuna amazzi g’ekyama tekikwetaagisa ddagala lyonna wabula olina okubeera n’obwagazi ate nga n’omusajja gw’oli naye omwagala.

Bw’oba nga ekizibu kino waakatandika okukifuna, sooka weebuuze kwe kiva.

Gwe weegatta naye omwagala? Oba waliwo embeera endala ekulemesa okunyumirwa nga y’evaako obutabeera na mazzi ga kyama.

N’omusajja yennyini ayinza okuba nga takuteekateeka bulungi. Ekizibu kino bwe kigaana okuvaawo, genda mu ddwaaliro eddene weebuuze ku bakugu, wandiba n’endwadde y’ekikaba ekulemesa okufuna amazzi gano.

blog comments powered by Disqus
Ebyaffe ebyakomyewo bijja kuyamba Buganda okudda ku ntikko. Okkiriza oba owakanya?
Nzikiriziganya nakyo
Ssikiriziganya nakyo
Can't Say
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: