Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Amawulire
Bannamwandu beesombye mu lumbe lw'owa UPDF
Mayuge | Aug 23, 2012
Ab''''''''amagye nga basitudde essanduuke y''''''''omulambo gwa Kakube.
  • Share
  • mail
  • img

Bya Charles Okalebo  ne  Tom Gwebayanga

OKUZIIKA omujaasi wa UPDF, eyafiiridde mu nnyonyi e Mayuge mu Busoga kubaddemu katemba, abakyala bana bwe beesowoddeyo nga bagamba nti bonna bannamwandu sso nga boofiisa ba UPDF abaawerekedde omulambo bagamba nti bamanyiiko babiri bokka.

Bino byabadde ku kyalo Busuyi mu Ggombolola y’e Wairasa ku Lwokubiri mu kuziika Warrant Officer 2 David Kakube eyafiira mu kabenje ka nnamunkanga eyagwa mu nsozi z’e Kenya ng’egenda mu ddwaaniro e Somalia.

Mu kuziika, abakazi 2; Judith Mary Nabuuma eyazze ne be yagambye nti bamulekwa basatu ne Monica Namajja eyagambye nti alina olubuto lw’omugenzi lwa myezi ena bazze nga bagamba nti balina okugabana ku buyambi obunaaweebwa bannamwandu ne bamulekwa ba Kakube.

 Wabula ofiisa w’amagye okuva e Kimaka, Brig Kasiita Gowa yagambye nti bannamwandu UPDF b’emanyi era omugenzi be yaleka awandiisizza bali babiri; Judith Nandawula ne Juliet Nakanwagi n’abaana baabwe omukaaga.

Oluvannyuma kyasaliddwaawo ng’okuziika kuwedde abooluganda batuule basunsule mu bannamwandu ne bamulekwa amannya bagaweereze ku kitebe kya UPDF.

GAVUMENTI YAAKULABIRIRA BAMULEKWA - MINISITA

Minisita omubeezi ow’ekikula ky’abantu ng’era ye Mubaka omukazi owa Mayuge, Lukia Nakadama yagambye nti gavumenti yaakulabirira amaka g’omugenzi omuli okuweerera abaana n’okuyamba bannamwandu.

Eyali Minisita w’ebyobulimi, Aggrey Bagiire, Omubaka wa Bunya South, Idi Isabirye, Ssentebe wa LC5 e Mayuge, Omar Bongo, n'Omubaka wa Luuka mu Palamenti, John Bagoole baabaddewo mu kuziika.

Omugenzi abadde yasomera Russia:

Kakube yayingira amagye mu 1999 oluvannyuma n’ayingizibwa mu ggye ery’omu bbanga n’atendekebwa mu bwayinginiya e Soroti we yava okutwalibwa e Russia okukuguka mu by’okukanika nnamukanga ekika kya Mi24, mwe yafiiridde.

 

 

blog comments powered by Disqus
MICHO: ‘Nzize kutuusa Cranes mu nsi ensuubize’ . Olowooza Micho anaatuusa Cranes mu nsi ensuub
Ye
Nedda
Simanyi
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: