Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Ebyemizannyo
HASSAN WASSWA ALIDDE: Ye kapiteeni wa Cranes e Botswana
Kampala | Aug 23, 2012
Wasswa (ku kkono) mu kutendekebwa kwa Cranes bwe baali beetegekera Congo Brazzaville mu June. Cranes ezannya Botswana e Gaborone ku Ssande.
  • Share
  • mail
  • img

Bya D. KIBANGA, H. SSONKO NE L. KAMERE

Ssande mu gw’omukwano:

Botswana - Uganda 

September 8 e Ndola:

Zambia - Uganda

CRANES esitudde ku makya ga leero okwolekera Botswana gy’egenda okuzannyira ne bannyinimu omupiira ogw’omukwano ku Ssande.

Omupiira guno gwakuyamba ttiimu zombi okulaba bwe ziyimiridde nga tezinnattunka na gya kusunsulamu abalyetaba mu za Afrika e South Afrika omwaka ogujja. Cranes ekyalira Zambia nga September 8 ate Botswana ekyalira Mali.

Bobby atutte abazannyi 18 nga ku bano,  basatu basuumusiddwa mu ttiimu y’abali wansi w’emyaka 20 (Hippos). Bano ye, Nicholas Wadada, Joseph Ochaya ne Joseph Mpande.

Hassan Wasswa, azannyira mu Turkey, y’agenda okugiduumira oluvannyuma lwa Andy Mwesigwa n’omumyuka we, Simeon Masaba obutagenda. Abazannyi abalala abagenze kuliko; Ali Kimera, Hamza Muwonge, Denis Guma, Mike Serumaga, Godfrey Walusimbi, Dan Wagaluka, Johnson Bagoole, Isaac Isinde, Ceasar Sapeo, Edward Ssali, Steven Bengo, Robert Sentongo, Ceasor Okhuti,  ne Emma Okwi. 

Mmamba Kakoboza 3-3 Kkobe

Mu mipiira gy’Ebika by’Abaganda, Paul Mukasa, ow’Emmamba Kakoboza, yajooze Ekkobe n’ayitiriza bwe yalisonsese ggoolo ssatu nga balemagana 3-3 e Wankulukuku. Badding’ana August 31. Leero, Engo eri butoola n’Ente mu kisaawe e Nakivubo.

blog comments powered by Disqus
Katikkiro Mayiga yanditandikidde ku ki mu kisanja kye nga Katikkiro?
1. Okubanja Ebyaffe
2. Okuzzaawo amasiro n’okutumbula ebifo eby’obuwangwa
3. Kuteekawo pulojekiti z’ebyenkulakulana mu bavubuka ba Buganda
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: