Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Amawulire
Omukazi afumise bba n’amutta
Kampala | Aug 24, 2012
Abatuuze nga bakung’aanidde ku nnyumba mwe battidde Katono. Mu kafaananyi akatono bw’abadde afaanana
  • Share
  • mail
  • img

 

Bya SARAH ZAWEDDE                                  

OMUKAZI akutte ekiso n’akisogga  bba mu kyenyi n’amutta ng’amulanga okutwala ssente ze ezibadde ez’emikolo n’apangisizaamu muggya we omuzigo.

Yamulese ataawa n’atandika okwewaana mu batuuze nti “mmumazze  ndaba agudde wali nga yeekoza. Omwana wange bwalimbuuza nti taata yadda wa nga mugamba nti yafa. Ate ekkomera siritya kubanga ninayo muganda wange tunaagenda ne tuba ffembi.” 

Reginah Nakigozi omutuuze w’e Kawempe Mbogo - Ketifalawo ye yafumise  Eric Katono ekiso ekyamuse.

 Bino byabaddewo  ku ssaawa nga 4.00 ez’ekiro ku Lwokusatu. Babadde bapangisa ku nnyumba za Abdu Ntale. Nakigozi abadde afumba caayi mu Bwaise era ng’amanyikiddwa nnyo  ate bba ng’avuga bodaboda okumpi n’oluguudo lwa Northern by pass . 

Nakigozi yasoose kwemulugunyirizza  baliraanwa be nti Katono yatutte 560,000/- ezaamukwasiddwa abeng’andaze  azitereke kubanga ku Lwomukaaga babadde n’olumbe gye babadde bagenda okuzikozesa.  Katono abadde amaze ennaku ssatu nga takomawo nga ssente yazipangisirizaamu omukazi omulala omuzigo.

Omu ku baliraanwa Jaliya  Nasanga  yagambye nti Katono yakomyewo ku ssaawa nga 4.00 ez’ekiro  era yatusanze ku dduuka emiryango ne Nakigozi nga tulaba Gataliiko Nfuufu. Yambuuzizza oluvannyuma n’agenda emmanju mu nnyumba ye. Waayisewo eddakiika nga 30 mukyalawe naye n’amugoberera . Kyokka wayiseewo akaseera katono baliraanwa  ne bawulira Nakigozi ng’akuba bba.

 

“Omusajja yamubuuzizza nti onjagaza ki? Kyokka Nakigozi ng’ayongera kumukuba .

Nagenze ne ningiza ne nsanga Nakigozi akutte ekiso akuba bba. Nabadde ngezaako okumutakkuluza n’angamba mmuveeko kubanga nange yabadde ayinza okunfumita era yabadde ayagala Katono amuwe ssente ze. Nadduseeyo ne mpita abantu abalala kyokka twasanze Nakigozi awalula bba amufulumizza ennyumba amusudde mu lukuubo .

Yagenze ku dduuka n’agula sooda nanywa nga bwe yeewana nti mmumaze era omwana bwalimbuuza kitaawe ndi mugamba nti yafa. Abadde ageezaako okunzirukako ne mukuba engwala ku kugulu okulimu ekyuma n’aggwa  kati mu maliriza,” Nasanga bwe yagambye.

Omutuuze Kidda yalabye Kigozi ali mu mbeera mbi kweyita poliisi kyokka yagenze okutuuka nga Kigozi yafudde dda .

Nakigozi olwakitegedde n’agezaako okudduka eri akulira abakyala Jaliya Nakyejjwe ng’ali wamu n’abatuuze abalala  bamukwattidde kumpi n’ekifo ekisanyukirwamu ekya Ivory  ne bamuzzaayo gye yasse omuntu ne bamuteeka ku kabangali eyamututte ku poliisi . DPC w’e Kawempe, Siraje Bakaleke yavumiridde ekikolwa kya Nakigozi  eky’okutwalira amateeka mu ngalo n’atta bba n’agamba nti omuntu bwaba afunye obutakkaanya mu maka aloope ku poliisi. 

 

 

blog comments powered by Disqus
Katikkiro Mayiga yanditandikidde ku ki mu kisanja kye nga Katikkiro?
1. Okubanja Ebyaffe
2. Okuzzaawo amasiro n’okutumbula ebifo eby’obuwangwa
3. Kuteekawo pulojekiti z’ebyenkulakulana mu bavubuka ba Buganda
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: