Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Amawulire
Nabakooba azziddwa ku bwogezi bwa Poliisi
Kampala | Aug 29, 2012
Maj. Gen. Kayihura ng''aliko by''annyonnyola Nabakooba
  • Share
  • mail
  • img

Bya Magaret Ziribaggwa

 
JUDITH Nabakooba, abadde amaze omwezi ng'aggyiddwa ku bwogezi bwa poliisi mu ggwanga, akomezeddwaawo mu ofiisi en mu nkyukakyuka ezirangiriddwa omumyuka w'omuduumizi wa poliisi.
 
Okoth Ochola.Simon Kuteesa, abadde yasikira Nabakooba, kati ali mu ofiisi ekola ku misango gy'amawulire ng'adda mu bigere bya Fred Mirondo abadde yatwalibwayo okuva mu kitongole ekinoonyereza ku misango gy'ebyobufuzi n'ebyokulonda, nga naye yazziddwaayo mu kitongole ekyo.
 
Emilian Kayima, abadde amyuka Kuteesa, kati ye mwogezi w'ekitongole eky'ebyettaka. Enkyukakyuka zino zaatandikiddewo okukola.
 
Ba ofiisa ba poliisi abaafulumye e Masindi baagabiddwa mu ofiisi ez'enjawulo nga ba CadetASP, era baatandikiddewo okukola.

blog comments powered by Disqus
Katikkiro Mayiga yanditandikidde ku ki mu kisanja kye nga Katikkiro?
1. Okubanja Ebyaffe
2. Okuzzaawo amasiro n’okutumbula ebifo eby’obuwangwa
3. Kuteekawo pulojekiti z’ebyenkulakulana mu bavubuka ba Buganda
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: