Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Ebyokulya
Ensonga 21 lwaki tosaanye kubulwa butungulu mu maka
Kampala | Sep 02, 2012
Obutungulu obusalesale.
  • Share
  • mail
  • img


Bya DR. GRACE NAMBATYA KYEYUNE

Akatungulu kamaze emyaka egisoba mu 5000 nga kamanyiddwa nti kasobola okujjanjaba endwadde eziwera mu bantu. Wadde nga bwawukana mu ndabika naye emigaso gyako tegyawukana nnyo, wabula akatono akayitibwa Akaganda ko kalina amaanyi mangi nnyo mu kujjanjaba endwadde.

Bw’oba ogenda okukozesa akatungulu tokasusumbula nnyo kubanga ekikuta ky’akatungulu kirimu amaanyi g’eddagala mangi.

1 Kaagazisa okulya:
Abaana abataagala kulya mmere ekyagala kizuukuse n’akatungulu, era n’omulwadde nga tayagala kulya bulungi teeka obutun¬gulu bungi ddala mu mmere ye ajja kw¬eyongera okulya.

2 Kaziyiza kkansa:
Bw’olya ennyo obutungulu obungi kiyamba omubiri obutafuna kkansa.

3 Kawagala obwongo:
Bw’oba weerabiralabira nnyo nyiikira oku¬lya akatungulu kubanga kawawula emisu¬wa nga kagobamu amasavu omusaayi ne gusobola okutambula obulungi, kayamba nnyo n’okugumya emisuwa .

4 Kagumya omubiri :
Akatungulu kongera amaanyi omubiri oku¬sobola okulwanyisa endwadde ezirumba omubiri, bw’oba olya obutungulu obungi kiba kizibu nnyo endwadde okukulumba.

5 Mu kugoya emmere:
Obutungulu era buyamba ekyenda ok¬weyongera amaanyi okusekula emmere n’egonda bulungi mu mubiri. Buyamba nnyo omubiri ekyenda okukukola amazzi ago agasekula emmrere. Bw’olya obutungulu obungi, buyamba okwoza mu lubuto, luba lugonda bulungi omuntu n’ofuluma bu-lungi kuba buyamba emmere obutatuula nnyo mu lubuto ku¬vundiramu.

6 Okutukuza ekibumba:
Akatungulu kakozese okutukuza ekibumba. Omuntu alya ennyo obutungulu kiba kizibu okulwala ekibumba.

7Okutukuza amawuggwe:
Kayamba okuzibukula amawug¬gwe okugatukuza omuntu n’oba ng’ossa bulungi, tolina buzito mu kifuba.

8 Okujjanjaba asima:
Akatungulu era kayamba okuj¬janjaba obulwadde bwa Asima. Omuntu alina obulwadde buno bw’alya obutungulu ayambibwa nnyo. Bw’oba oyagala okufuna obulungi mu Katungulu olya kangi nga kabisi. Busaleesale nga bungi omamirire ku mmere gy’ogenda okulya.

Ekirala kamula obutungulu omubisi ogwo otabikemu ennyaanya guyamba nnyo omu¬biri ng’ogunywedde

9 Okujjanjaba ssenyiga: Kamula obutungulu ofunemu amazzi agaweza kimu kyakuna eky’ekikopo, onywe buli lunaku, ssenyiga talina wajja kukuyita. Oyinza oku¬kozesa akagiiko akatono n’onywa kamu emirundi esatu olunaku.

Kigambibwa nti bw’osala obutungulu n’obusekula n’obussa mu kisenge omukka oguvaamu guyinza okuyamba okuziyiza ssenyiga. Kyokka buli lunaku oba olina oku¬kozesa obutungulu obupya.

10 Okulongoosa enviiri: Enviiri zo bwe ziba zikutukakutuka, sekula obutungu¬lu akamulemu amazzi gaabwo. Funa tawulo oginnyike mu mazzi agabuguma ogisibe ku mutwe gwo okumala essaawa nnamba.

Oluvannyuma ddira amazzi g’obutungulu gali ge wakamudde ogasiige mu nviiri, gajja kuyingira mangu omutwe gwonna. Oluvan¬nyuma lw’eddakiika 20 naaba mu nviiri ne shampoo anaayamba okumalamu akasu k’akatungulu.

11 Amatu agaluma: Abaana batera nnyo okulumwa amatu. Kebera okutu kwe olabe ng’akabubi k’okutu si ke kaay¬abika. Bwe kaba kalamu, kamula amazzi g’akatungulu ogasse ku kawujjo oba mu ki¬wuubiiro ky’empiso okutali mpiso ekiyonjo era ekitakolangako, otonnyeze mu kutu

12 Enjuki oba ensiri ng’ekulumye: Ebiwuka bino bwe bikuluma, olususu ne lumyukirira n’okukusiiwa, funa akatungulu, okalongoose, okasalemu oyise we baalumye, amazzi ago gajja kukkakkanya obuz¬imbu obulumi n’okusiiyibwa biwone.

13 Amabwa mu bulago: Bw’oba n’amabwa mu bulago oba okugaziyiza, ka¬mula amazzi g’obutungulu onywe.

14 Amazzi bwe gakwokya oba bw’okwata ku lyanda ne likwokya, amangu ddala sekula obutungulu ofukemu amazzi oyise awookeddwa obulumi bujja kukkak¬kkana.

15 Okugoba ebiwuka mu nju: Bw’oba olina munyeera ebikennembi oba ebiwuka ebirala ebikutawaanya mu nju, funa ebisusunku by’oggye ku butungulu ebiwunya oyinza n’okusekuliramu akatun¬gulu obisse ku kasowaani oba ku kapapula osse awali obuwuka obwo, ojja kulaba nga buvaawo nga budda awatali butungulu.

16 Ebiguuna: Ng’olina ekiguuna oba ekisente, sekula obutungulu bugonde bu¬lungi , osekule ne aspirin obugatte wamu ofukemu otuzzi tutono. Nga byetabudde bulungi, kamula amazzi ago ogayise awali ekiguuna oba ekisente kijja kuggwaawo mpola.
Oyinza n’okufuna teepu n’osibawo ng’omaze okuyisaawo bulungi amazzi gano, waanaayita essaawa nga ziizo ojja ku¬laba ng’ekisente kiseebengeredde. Oyinza n’okusala mu katungulu, n’osiigako omun¬nyo olwo n’okuuta awali ekiguuna oba ekisente.

17 Ekyuma ekitalazze: Bw’oba n’akambe ko oba ekyuma ekirala nga kitalazze, sekula obutungulu osseemu otuzzi otumala, okuute akambe oba ekyu¬ma ekirala ng’oddira olugoye n’olunnyika mu mazzi gano olwo n’okuuta. Tebijja kwanguya nga ebikuuta ebitundibwa, naye bijja kukola bulungi.

18 Embalabe singa zikuluma ne zikuleetera n’obukovu obuddugavu, sekula obutungulu oyiwemu otuzzi tutono okam¬ule amazzi agavaamu oyise mu feesi nga weeyambisa akagoye okuute mpola mpola, enkovu zijja kubula. Kola akatungulu nga kaka. Bwe kanaakugenda mu maaso gajja kukaaba naye ekyo tekikugaana kugenda mu maaso.

19 Singa osiiga langi mu kabada yo mu ffumbiro, okuziyiza langi eno okuwu¬nya salasala obutungulu oba okubuseku¬la obusse mu kabada eyo okumala es¬saawa nga ziizo, onoogenda okugiggula ng’okuwunya tekukyalimu.

20 Omuntu azirika: Bw’olaba omuntu ng’azirika sala mangu akatungulu okamuwunyise ku nnyindo ajja kutereera

21 Obudde bwe buba obw’empewo ng’endabirwamu z’emmotoka yo zituuyana ne zikulemesa okulaba gy’olaga, sala aka¬tungulu okasiige munda w’endabirwamu, tejja kutuuyana.

Bw’omala okusoma bino byonna era oky¬abuusabuusa lwaki akatungulu tekasaanye kubula mu maka go? (Ebirala bisimbud¬dwa ku www.tipking.co.uk)
 

blog comments powered by Disqus
Katikkiro Mayiga yanditandikidde ku ki mu kisanja kye nga Katikkiro?
1. Okubanja Ebyaffe
2. Okuzzaawo amasiro n’okutumbula ebifo eby’obuwangwa
3. Kuteekawo pulojekiti z’ebyenkulakulana mu bavubuka ba Buganda
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: