Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Bukedde Ku Ssande
Mukuumi ki asinga obulungi mu maka?
Kampala | Sep 04, 2012
Abantu bangi beyambisa embwa mu ku kuuma amaka gaabwe.
  • Share
  • mail
  • img

Bya FRED KAYONGO

Eby’okwerinda bifuuse ensonga ku bantu abazimba amaka olw’obubbi obweyongera buli lukya.

Nga ogenda okuzimba ennyumba ey’ekirooto kyo kiba kirungi n’osooka omanya oba ekifo w’ogizimbye kirina ebyokwerinda ebinywevu.

Kyokka bwe kituuka ku kusalawo ekisinga obulungi omuntu ky’asaanye okukozesa okukuuma amaka ge olwo ne gujabagira.

Embwa:
Abamu beeyambisa mbwa okukuuma amaka gaabwe era bangi bazitendereza nti ye mukuumi akyasinze abakuumi bonna.

Abazitendereza basin¬ga kuzisiimako bwesigwa n’okwagala bakama baazo mu mukwano ogwa nnamaddala nga ne bwe kuba kuku¬fiiirira embwa entendeke obulungi ekufiirira.

Zirina eriiso ejjogi n’okutu okwangu¬wa okuwulira akakuba ne bwe kaba kakoze eddoboozi ttono nnyo.

Waliwo abagamba nti embwa en¬tendeke ziri ku buseere, kyokka ogigula omulndi gumu, togisasulira buli mwezi okuggyako okugiwanga ebyokulya.

Abazitendereza era bagamba nti tezirya nguzi era tezirina gwe zit¬tira ku liiso so nga waliwo abakuumi abamu be bawa ssente ate ne bayam¬ba ababbi okunaga bakama baabwe.

Kyokka ekizibu ky’embwa oluusi bazi¬wa obutwa n’okuzifuuyira kalifoomu.

Kkamera:
Alex Kawooya okuva mu Claudes Wic international, agamba nti kamera za bika bingi omuli ze bayita Dome, Spy camera, Vando proof n’endala.

Kamera ya CCTV eri ku mulembe,eno eraba buli kimu wotali era terimba.

Agamba nti engeri gyokozesaamu kka¬mera eno esinziira ku kiki ky’oyagala okulaba era n’engeri gy’oziteekawo.

Bw’oba oteeka kamera ku nnyumba nga zaakukuuma tekiba kirungi kuzi¬teeka ate mu nnyumba munda wabula ziteekebwa wabweru era ng’ennyumba ey’amaka esaanako kkamera 4 zokka okusobola okukola obulungi n’okulaba buli eyeekulubee¬seza ku nnyumba.

Bw’oba ogula kkamera zino oli¬ na okubeera omwegender¬eza ku kika ky’ogula kubanga waliwo ezitagenda bweru nga bw’oziteekayo zonooneka olw’embeera yobudde.

Kawooya agamba nti amasan¬nyalaze agavaavaako gasobola okuletera kamera okwonooneka.

Ebirungi ebiri mu kukozesa ka¬mera si kyangu kamera eno kukulimba kubanga yo ky’eraba ky’etereka nga ne bwoba toli¬iwo osobola okumanya eky¬abadde awaka mu budde bw’otaabaddewo.

Kkamera ekola esaawa 24 kubanga waliyo n’ezisobola okulaba mu kizikiza, zo tezeebaka. Kkamera zino zitandikira ku 300,000/= okutuuka ku 6000,000/.

Kyokka zo obutafaanana na mbwa oba omuntu, zikulabula bulabuzi nti zuukuka waliwo akabi naye tezisobola kukul¬wanirira.

Naye eddoboozi ly’akade akal¬abula nga waliwo akabi oluusi litiisa ababbi ne badduka nga baliwulidde.

Abakuumi:
Bano balungi nnyo kubanga okumulaba obulabi oluusi ki¬mala, omubbi n’ateetantala ku¬lumba maka go.

Abakuumi bali ku bbeeyi ya wansiko okusinga kkamera enkuumi.

Omukuumi ow'ekitongole eky'obwannanyini ng'akuuma ekimu ku bizimbe mu Kampala.

Obutafaanana na kkamera, te¬babeera mu kifo kimu wabula balawuna ekifo kyonna era beetegefu okulwanirira bakama baabwe n’okulaba nga tewali ay¬ingira mu maka ge bakuuma nga taweeredddwa lukusa.

Abakuumi basobola bulungi okupima embeera n’eryanyi ery¬etaaga okukozesebwa ekitali ku mbwa wadde kkamera.
Si kyangu mukuumi kukuzuuku¬sa bya mpewo ng’awulidde kiti ekigwa okuva ku muti so nga yo embwa ekiti kisobola okugitiisa n’eboggola ne kamera ezivu¬girako n’obude ziyinza okubu¬zaabuzibwa n’obude ne buvuga.


 

blog comments powered by Disqus
MICHO: ‘Nzize kutuusa Cranes mu nsi ensuubize’ . Olowooza Micho anaatuusa Cranes mu nsi ensuub
Ye
Nedda
Simanyi
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: