Bya DICKSON KULUMBA
MU Kampala nga mulimu siteegi nnyingi? Ani asalawo ku siteegi zino era ssente ezikung’aanyizibwako ani
azitwala era azitwala ?
Wadde ekitongole kya KCCA kyaggya ku UTODA obuvunaanyizibwa bw’okuddukanya ppaaka za takisi mu Kampala, abavubuka abaali mu kitongole kino tebatuulidde awo!
Abamu amaanyi bagatadde mu kussaawo siteegi ez'obuwaze mu buli kafo konna omusobola okusimbwa mmotoka mu Kampala.
Ssente ze basolooza ani azitwala, lwaki abatakisi bakyazisasula?
Musa Kakooza, akulira ebyokwerinda ku siteegi ya bodaboda okuliraana essundiro ly'amafuta erya Total ku luguudo lw'e Nakivubo agamba:
ABA UTODA BEEYUBUDDE
Abavubuka abaali mu UTODA be bavunaanyizibwa ku siteegi zonna eziri mu bifo by’oyinza okuyita ebitakkirizibwamu mmotoka. Era bataddewo siteegi nnyingi mu Kampala.
Era ne siteegi eno (ku Total) be bagiddukanya.Nnannyinni ssundiro lino agezezzaako okugoba siteegi eno wano kyokka emyaka gyekulungudde ng'alemeseddwa.
Weewunye ng'ataddemu ne poliisi okujja okugoba abantu abo ne bigaana! Waliwo n'omuserikale eyaleetebwa wano okugoba takisi naye kati alinga eyafuuka owa takisi anti buli lwe batikka babaako kye bamuwa”.
Ku siteegi eno buli mmotoka etikkulirawo esasula 2,000/-. Era siteegi ez'oku luguudo lw'e Nakivubo zikola kinene okuziba ekkubo n'okuleetawo akalippagano.
Abavubuka ababbi ababeera ku mwala gw'e Nakivubo, bakozesa embeera eno okunyaga ebintu by'abantu naddala obusawo bw'abakyala.
N’ABASERIKALE BABULYAMU
Busiteegi obw’ekimpatiira buyitiridde mu Kampala. Ku Mini Price (ben Kiwanuka Street), siteegi essibwawo kiro.
Ekozesebwa emmotoka ezidda e Bwaise, Kawempe, Kaleerwe n'ebifo eby'oludda olwo.
Kuliko omuvubuka asolooza ensimbin'omutima gw'oyinza okugamba, ogutasagira mu nnusu nga buli
mmotoka esasula wakati wa 1,500/- ne 2,000/-.
Endala ziri bbiri naye ng'abagoba b'emmotoka bagamba nti zino ziriko bannanyinni zo nga kuliko abavubuka ababasololeza ensimbi oluvannyuma ne bagabana.
Siteegi zino ziri ku Mutaasa Kafeero ne Yamaha Centre. David Ssekigudde, ssentebe wa siteegi ya sipensulo ku Duster Street agamba nti siteegi ez'ekimpatiira bwe ziti zeetaaga okugobwawo kubanga zituukirwako nnyo ab'empisa embi kuba batya okujja ku siteegi ezimanyiddwa.
" Siteegi ez'ekikula kino zimerukawo lwakuba ku siteegi ezimanyiddwa kubeerako emmotoka nnyingi, abatalina bugumiikiriza, ne batondawo siteegi endala, kyokka zitaataaganya entambula y'ebidduka mu Kampala,” Ssekigudde bwe yagambye.
Omwogezi wa KCCA, Peter Kauju yagambye nti siteegi ezoogerwako tebazirinaako buvunaanyizibwa era tebamanyi na ssente ezikung’aanyizibwa gye zidda.
“Ffe kasita batusasula 120,000/- eza buli mwezi nga kiwedde. Ssente zaffe zigenda mu bbanka, abo abasolooza ku siteegi ezo tetubamanyi,” Kauju bwe yagambye.

Eno siteegi eri okumpi ne bbanka enkulu. Bawadeni ba tula ki bano ( abali mu byeru) be bagiddukanya. Ekif; Dickson Kulumba.
KU BBANKA ENKULU
Okuliraana bbanka ya Uganda enkulu, waliwo bawadeni ba tulafi ki abaaliwo ku mulembe gwa UTODA nga n'ensangi zino bakola ku kalippagano k'ebidduka mu kitundu. Bano bakozesa akapande ke baateeka mu kibangirizi awasimbwa.
Singa emmotoka ebawa ssente olwo ng’akapande bakaggyawo nga bagikkiriza okutikkirawo,
bw’otobawa ssente bakugobera ddala!
Bakola okuva ku makya okutuusa essaawa kkumi n'emu olw'eggulo ate abalala lwe bajja ne babasikira nabo ne balya.
Buli mmotoka ejjulira mu kifo erina okusasula 1,500/- Ddereeva ataayagadde kumwatuukkiriza yantegeezezza nti abasajja bano babeera bayiiya bulamu, kye bakola kwe kulaba ng'emmotoka tezijjula mu kifo nga bakkirizaako ezo ensaamusaamu ate ezisasula.
Ekirala bakolagana n'abapoliisi ababeera ku luguudo luno kuba nabo ekikolwa kyabwe bakimanyiiko. Akapande ke bakozesa, kakuuma paakingi ya bbanka enkulu okulaga nti tewali muntu alina kusimbawo mmotoka.
Emmotoka bw’ejja nga yeetegese okubasasula olwo ng’akapande bakaggyawo. Olunnyuka ng’akapande bakatereka mu geeti ya bbanka enkulu.